Kye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jan. 15
“Ennaku zino abantu baagala nnyo okumanya ebikwata ku bamalayika. Naawe wandyagadde okumanya ebibakwatako era n’engeri gye bakwata ku bulamu bwaffe? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Zabbuli 34:7.] Magazini eno eraga Baibuli ky’eyogera ku ebyo bamalayika bye baakola edda, bye bakola kati era n’ebyo bye bajja okukola mu biseera eby’omu maaso.”
Awake! Jan.
“Leero abantu baweebwa amagezi kumpi ku buli nsonga. Naye olowooza amagezi gonna agaweebwa tuyinza okugeesiga? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma 2 Timoseewo 3:16.] Magazini eno eraga ensonga lwaki Baibuli gye tulina okwesiga.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 18.
The Watchtower Feb. 1
“Ffenna twetaaga ssente okusobola okweyimirizaawo. Naawe okikkiriza nti kitwetaagisa okwewala akabi akoogerwako wano? [Soma 1 Timoseewo 6:10, era muleke abeeko ky’addamu.] Magazini etuyamba okumanya akabi akali mu kwagala ennyo okugaggawala era n’engeri gy’oyinza okukeewalamu.”
Awake! Feb.
“Bangi ku ffe abalina ab’eŋŋanda n’ab’emikwano abakuze mu myaka, twebuuza engeri gye tuyinza okubayambamu okwolekagana n’ebizibu ebibaawo mu myaka egy’obukadde. Si bwe kiri? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga ebintu bye tuyinza okukola okusobola okwolekagana n’emyaka egy’obukadde. Era ennyonnyola n’engeri obunnabbi buno gye bujja okutuukirizibwamu.” Soma Yobu 33:25.