Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jan. 15
“Olowooza ludda wa abafumbo gye bayinza okuggya amagezi ageesigika? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze oyo eyatandikawo obufumbo. [Soma Olubereberye 2:22.] Katonda era yawa obulagirizi obukwata ku buvunaanyizibwa obw’ekitiibwa omwami n’omukyala bwe balina. Magazini eno ennyonnyola ensonga zino.”
Awake! Jan.
“Okyetegerezza nti abantu bangi abeeyita Abakristaayo tebagoberera njigiriza za Yesu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ng’ekyokulabirako, bangi tebagoberera bigambo bino Yesu bye yayogera. [Soma Yokaana 13:35.] Ekitundu kino kinnyonnyola enjawulo eri wakati w’ebyo Yesu bye yayigiriza n’endowooza abantu bangi abeeyita Abakristaayo ze balina.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 18.
The Watchtower Feb. 1
“Olowooza ekitundu kyaffe kyandibadde kirungi okusingawo singa abantu bonna baali bagoberera ebigambo bino? [Soma Abaefeso 4:25. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Abantu bangi balowooza nti si kibi okulimba mu mbeera ezimu. Magazini eno ennyonnyola emiganyulo egiri mu kwogera amazima buli kiseera.”
Awake! Feb.
“Endowooza abantu gye balina ku ddiini erabika egenda ekyuka mu bitundu ebimu. Olowooza amakanisa gagenda gaddirira mu buyinza bwe galina eri abantu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ebigambo bino eby’omutume Pawulo biwa ensonga lwaki abamu tebakyesiga madiini. [Soma Ebikolwa 20:29, 30.] Magazini eno eraga Baibuli ky’eyogera ku ekyo ekinaatuuka ku Bukristaayo mu biseera eby’omu maaso.”