Okumanyisa Erinnya lya Katonda
1. Okuyiga erinnya lya Katonda kiyinza kukola ki ku bantu?
1 Wawulira otya bwe wasooka okuyiga erinnya lya Katonda? Bangi baakwatibwako mu ngeri efaananako n’ey’omukazi eyagamba: “Bwe nnasooka okulaba erinnya lya Katonda mu Baibuli, nnakaaba. Nnakwatibwako nnyo bwe nnategeera nti nsobola okumanya erinnya lya Katonda era n’okulikozesa.” Okuyiga erinnya lya Katonda lyali ddaala kkulu nnyo eri omukyala oyo eryamusobozesa okumanya Yakuwa era n’okufuna enkolagana ennungi naye.
2. Lwaki kikulu okuyigiriza abalala ebikwata ku Yakuwa?
2 Lwaki Tulina Okulimanyisa? Okumanya erinnya lya Katonda kizingiramu okuyiga engeri ze, ebigendererwa bye, era n’ebikolwa bye. Era tuteekwa okumanya erinnya lye okusobola okufuna obulokozi. Omutume Pawulo yawandiika: ‘Buli alikaabirira erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.’ Ate era yaggatako nti, “balimukaabirira batya,” okuggyako nga basoose okuyiga ebimukwatako era ne bamukkiririzaamu? N’olwekyo, kikulu Abakristaayo okumanyisa abalala erinnya lya Katonda ne byonna ebizingirwamu. (Bar. 10:13, 14) Kyokka, waliwo ensonga esingawo obukulu lwaki tulina okumanyisa erinnya lya Katonda.
3. Nsonga ki esinga obukulu lwaki tubuulira?
3 Mu myaka gya 1920, abantu ba Katonda baategeera okuva mu Byawandiikibwa ensonga enkulu ekwata ku kulaga obutuufu bw’obufuzi bwa Katonda n’okutukuzibwa kw’erinnya lye. Nga Yakuwa tannaba kuzikiriza abantu ababi, okuggya ekivume ku erinnya lye, amazima agamukwatako galina ‘okumanyisibwa mu nsi yonna.’ (Is. 12:4, 5; Ez. 38:23) N’olwekyo, ensonga esinga obukulu lwaki tubuulira kwe kutendereza Yakuwa mu lujjudde n’okutukuza erinnya lye mu maaso g’abantu bonna. (Beb. 13:15) Okwagala Katonda ne baliraanwa baffe kujja tukubiriza okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu guno ogutuweereddwa Katonda.
4. Abajulirwa ba Yakuwa bakwataganyiziddwa batya n’erinnya lya Katonda?
4 ‘Abantu ab’Erinnya Lye’: Mu 1931 twatandika okukozesa erinnya Abajulirwa ba Yakuwa. (Is. 43:10) Okuva olwo, abantu ba Katonda bamanyisizza erinnya lya Katonda ne kiba nti ekitabo Proclaimers kigamba bwe kiti ku lupapula 124: “Okwetooloola ensi yonna, omuntu yenna akozesa erinnya lya Yakuwa bamutwala okuba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa.” Naawe amanyiddwa bw’otyo? Okusiima obulungi bwa Yakuwa kwanditukubirizza ‘okutendereza erinnya lye,’ nga tumwogerako buli wonna we tufunira akakisa.—Zab. 20:7; 145:1, 2, 7.
5. Enneeyisa yaffe ekwatagana etya n’okumanyisa erinnya lya Katonda?
5 ‘Ng’abantu ab’erinnya lye,’ tulina okukuuma emitindo gye. (Bik. 15:14; 2 Tim. 2:19) Emirundi egisinga abantu kye basooka okwetegereza ku Bajulirwa ba Yakuwa ye nneeyisa yaabwe ennungi. (1 Peet. 2:12) Tetwagala kuvumaganya linnya lye nga tumenya emisingi gye oba nga tuteeka okusinza kwe mu kifo eky’okubiri mu bulamu bwaffe. (Leev. 22:31, 32; Mal. 1:6-8, 12-14) Wabula, ka twoleke mu bulamu bwaffe nti enkizo ey’okumanyisa erinnya lya Katonda tugitwala nga ya muwendo.
6. Nkizo ki ey’amaanyi gye tusobola okuba nayo kati era n’emirembe gyonna?
6 Leero, tulaba okutuukirizibwa kw’ebigambo bya Yakuwa: “Okuva enjuba gy’eva okutuusa gy’egwa erinnya lyange kkulu mu b’amawanga.” (Mal. 1:11) Ka tweyongere okumanyisa amazima agakwata ku Yakuwa era ‘tutendereze erinnya lye ettukuvu emirembe gyonna.’—Zab. 145:21.