Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower May. 15
“Buli lunaku tuwulira alipoota ezikwata ku ttemu. Olowooza embeera zino zaali zibaddewoko? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Baibuli ky’egamba. [Soma Matayo 24:37.] Ennaku za Nuuwa zaali mbi nnyo Katonda n’atuuka n’okuzikiriza abantu bonna okuggyako Nuuwa n’ab’omu maka ge. Magazini eno eraga engeri ebyo ebyaliwo gye biri eby’amakulu gye tuli leero.”
Awake! May. 22
“Leero, obulwadde obusaasaanyizibwa ebiwuka bwe bumu ku obwo obwa kabi eri obulamu bwaffe. Obadde okimanyi nti waliwo ky’oyinza okukola okwewala obulwadde obwo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola ekiyinza okukolebwa, era n’ekisuubizo kya Baibuli eky’okumalawo obulwadde.” Fundikira ng’osoma Isaaya 33:24.
The Watchtower Jjun. 1
“Alipoota ezikwata ku kukozesa obubi ensimbi ezigabibwa abazira kisa zireetedde abamu okwebuuza obanga kya magezi okuwa ensimbi ebibiina ebigaba obuyambi. Kyokka, waliwo abantu bangi abali mu bwetaavu. Olowooza kiki ekiyinza okukolebwa? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Abebbulaniya 13:16.] Magazini eno ennyonnyola okugaba okusanyusa Katonda.”
Awake! Jjun. 8
“Kirabika leero abantu bangi tebafaayo ku mpisa nnungi nga bwe kyali mu myaka egy’edda. Naawe bw’otyo bw’olowooza? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekyo Baibuli yakyogerako dda. [Soma 2 Timoseewo 3:1-5.] Awake! eno ennyonnyola lwaki empisa z’abantu zikyuse era n’ebiseera eby’omu maaso bwe binaaba.”