Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower May. 15
“Olowooza ekiseera kirituuka ne tubeera mu nsi etaliimu bwavu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Katonda ky’asuubiza. [Soma Isaaya 65:21.] Magazini eno ennyonnyola engeri ekisuubizo ekyo gye kinaatuukirizibwamu.” Kola enteekateeka okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino: Ekisuubizo kino kinaatuukirizibwa ddi?
Awake! May. 22
“Wadde ng’abantu abasinga obungi bakizudde nti ebintu ng’okusitula ebyuma, okudduka n’okuwuga bikulu nnyo okusobola okuba omulamu obulungi, bangi tebabikola kimala. Si bwe kiri? [Muleke ebaako ky’addamu.] Magazini eno eraga emiganyulo egiri mu kukola ebintu ng’ebyo obutayosa era n’engeri gye tuyinza okubikolamu.”
The Watchtower Jjun. 1
“Wadde nga kumpi buli omu ayogera ku mirembe, abantu balemereddwa okuba obumu. Olowooza kisoboka ensi yonna okuba obumu? [Muleka abeeko ky’addamu.] Magazini eno eyogera ku gavumenti esobola okuleeta obumu mu nsi yonna.” Soma Zabbuli 72:7, 8, oluvannyuma okole enteekateeka okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ekyo gye kiribaawo.
Awake! Jjun. 8
“Okyetegerezza nti abantu bangi beeraliikirivu olw’okuba kookolo w’olususu yeeyongedde? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga ensonga lwaki leero tuli mu kabi k’okufuna kookolo era n’eraga kye tuyinza okukola okusobola okwekuuma obulwadde obwo.” Fundikira ng’omulaga essuubi eribudaabuda erisangibwa mu Yobu 33:25.