Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Apu. 15
“Mu myaka egiyise kyetegerezeddwa nti abantu bangi tebakyafaayo ku bya mwoyo. Kino naawe okyetegerezza? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Zabbuli 119:105.] Emitindo egy’eby’omwoyo giyinza okuyamba abantu okwewala ebizibu bingi mu bulamu. Magazini eno eraga wa we tuyinza okusanga emitindo egy’eby’omwoyo egy’amazima.”
Awake! Apu. 22
“Mu nsi ya kakyo kano etambulira ku sipiidi ey’amaanyi, abantu bangi beebuuza obanga abaana bakula mangu nnyo. Naawe bw’otyo bw’olowooza? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Omubuulizi 3:1, 4.] Ekiseera ky’obuto si kye kiseera abaana okwetikka obuvunaanyizibwa bw’abantu abakulu. Awake! eno ennyonnyola engeri abazadde gye bayinza okulabirira abaana baabwe mu kiseera ky’obuto.”
The Watchtower May. 1
“Ebibuuzo ebimu abantu tebayinza kubiddamu. Weetegereze ekibuuzo kino. [Soma Yobu 21:7.] Waali obaddeko n’ekibuuzo ky’oyagala okubuuza Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola engeri abantu okuva mu buli kitundu ky’ensi gye bafunye eby’okuddamu ebimatiza mu bibuuzo bisatu ebisinga obukulu mu bulamu.”
Awake! May. 8
“Bangi ku ffe tuyinza okuba tumanyiyo omulwadde wa sukaali. Omanyi ebikwata ku bulwadde buno? [Mulage eddiba lya magazini, era muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola ebiviirako obulwadde bwa sukaali n’engeri y’okubujjanjabamu. Era eyogera ne ku kisuubizo kya Baibuli eky’okumalirawo ddala obulwadde bwonna.” Fundikira ng’osoma Isaaya 33:24.