Abavubuka—Muzimbe Omusingi Omunywevu ogw’Ebiseera eby’Omu Maaso
1. Lwaki abavubuka Abakristaayo beetaaga okukulaakulanya okukkiriza okunywevu?
1 Kiki ekisinga okutwala ebirowoozo byo? Ebirowoozo byo obimalidde ku bintu ebiriwo kati, oba ofaayo ne ku bintu eby’omu biseera eby’omu maaso awamu n’okulowooza ku ebyo Katonda by’asuubizza? (Mat. 6:24, 31-33; Luk. 8:14) Okukkiriza okunywevu kwetaagisa okusobola okussaayo omwoyo ku bisuubizo bya Katonda nga bwe kirabikira mu kyokulabirako kya Ibulayimu ne Musa. (Beb. 11:8-10, 24-26) Osobola otya okukulaakulanya okukkiriza ng’okwo era n’ozimba omusingi ‘omunywevu ogw’ebiseera eby’omu maaso’?—1 Tim. 6:19.
2. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Kabaka Yosiya?
2 Noonya Yakuwa: Bwe muba mulina enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo mu maka gye muva, ekyo kirungi. Naye tosuubira nti enteekateeka ng’eyo ku bwayo ejja kunyweza okukkiriza kwo. Okusobola “okumanya Katonda,” gwe kennyini olina okunoonya Yakuwa. (Nge. 2:3-5; 1 Byom. 28:9) Kabaka omuto Yosiya, ekyo kye yakola. Wadde nga yakulira mu maka agaali gatafaayo ku bya mwoyo, ‘yatanula okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe,’ ng’aweza emyaka 15.—2 Byom. 34:3.
3. Leero abavubuka Abakristaayo basobola batya okunoonya Yakuwa?
3 Osobola otya okunoonya Yakuwa? Nga weekenneenya n’obwegendereza enzikiriza zo era nga ‘gwe kennyini okakasa’ nti ge mazima. (Bar. 12:2) Ng’ekyokulabirako, osobola okunnyonnyola ekyo Baibuli ky’eyogera ku bikwata ku musaayi, oba okuwa obukakafu nti Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu ggulu mu 1914? “Okutegeerera ddala amazima,” kikulu nnyo mu kuzimba omusingi omunywevu ogw’ebiseera eby’omu maaso.—1 Tim. 2:3, 4.
4. Ababuulizi abatali babatize basobola batya okwoleka okukulaakulana kwabwe?
4 Yosiya bwe yanoonya Yakuwa, kyamuviiramu ebirungi. Nga tannaweza myaka 20, yayoleka obuvumu n’amalawo okusinza okw’obulimba mu nsi. (2 Byom. 34:3-7) Mu ngeri y’emu, okukulaakulana kwo mu by’omwoyo kujja kweyolekera mu bikolwa byo. (1 Tim. 4:15) Bw’oba oli mubuulizi atali mubatize, fuba okulongoosa omutindo gw’obuweereza bwo. Toba mumativu na kugaba bugabi bitabo. Kifuule kiruubirirwa kyo okukozesa Baibuli, okukubaganya ebirowoozo n’abantu, era n’okuddayo eri abaagala okumanya ebisingawo. (Bar. 12:7) Kino kijja kukuyamba okukula mu by’omwoyo.
5. Mikisa ki Abakristaayo ababatize gye balina egy’okugaziya obuweereza bwabwe?
5 Wa Yakuwa Ekisingiridde: Bw’oyoleka okwewaayo kwo eri Yakuwa ng’obatizibwa, ofuuka muweereza wa Katonda atongozeddwa. (2 Kol. 3:5, 6) Kino kikuggulirawo emikisa okuweereza Yakuwa ekiseera kyonna. Emikisa egyo gizingiramu okuweereza nga payoniya, omubeseri, omuminsani, n’obuweereza obw’ensi yonna. Ate era, engeri endala ey’okugaziyaamu obuweereza bwo, kwe kuyiga olulimi olulala oba okugenda awali obwetaavu obusingako.
6. Ffenna tusobola tutya okuzimba omusingi omunywevu ogw’ebiseera eby’omu maaso?
6 Kya lwatu, si buli omu nti asobola okwenyigira mu nkizo zino ez’obuweereza, kyokka buli omu kuffe asobola okuwa Yakuwa ekisingiridde. (Mat. 22:37) Embeera zo ka zibe zitya, kulembeza okuweereza Yakuwa mu bulamu bwo. (Zab. 16:5) Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba ozimbye omusingi omunywevu ogw’ebiseera eby’omu maaso.