EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | AMOSI 1-9
“Munoonye Yakuwa Musobole Okusigala nga Muli Balamu”
Okunoonya Yakuwa kitegeeza ki?
Kitegeeza okweyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa, n’okukola by’ayagala
Kiki ekyatuuka ku Bayisirayiri bwe baalekera awo okunoonya Yakuwa?
Baalekera awo ‘okukyawa ekibi era ne balekera awo okwagala ekirungi’
Ebirowoozo byabwe baabimalira ku kwesanyusa bokka
Tebaafangayo ku ebyo Yakuwa bye yabagambanga
Biki Yakuwa by’atuwadde okutuyamba okumunoonya?