Ganyulwa mu Kusoma Akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
1 Twasanyuka nnyo okufuna akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti Olwa “Abalangirizi b’Obwakabaka Abanyiikivu.” Bangi baasoma akatabo ako amangu ddala nga baakakafuna. Era kirabika n’abalala bangi baakasoma nga bakubirizibwa ekyawandiikibwa ky’omwaka 2003: “Funa enkolagana ennungi ne Katonda naye anaabeera mukwano gwo.”—Yak. 4:8, NW.
2 Mu Maaki tujja kutandika okwekennenya akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina. Tuyinza tutya okuganyulwa mu ngeri esingawo mu kusoma kuno? Kikulu nnyo okutegeka. Buli ssuula tujja kugisomamu emirundi ebiri, nga tusoma obutundu butono buli wiiki. Kino kijja kubasobozesa okuba n’ebiseera ebimala okubaako ne bye muddamu ebiviira ddala ku mutima mu ebyo bye mwayize nga muteekateeka era nga mufumiitiriza ku kitundu eky’okusoma. Okugatta ku ekyo, obutundu butono nnyo ddala obujja okwekenneenyezebwa mu wiiki ekomekkereza essuula, kisobozese okweyambisa ekintu eky’enjawulo ekiri mu katabo.
3 Okutandika n’essuula 2, akasanduuko akalina omutwe “Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako” kasangibwa okumpi n’enkomerero ya buli ssuula. Oluvannyuma lw’okwekenneenya akatundu akasembayo mu ssuula, omulabirizi okubiriza okusoma ekitabo ajja kukubaganya ebirowoozo ku kasanduuko n’abawuliriza. Ajja kusaba abali mu kibinja kye okwogera ku ngeri gye baaganyuddwa mu kufumiitiriza ku Byawandiikibwa. (Nge. 20:5) Ng’ogyeko ebibuuzo ebiweereddwa mu kasanduuko, ayinza okubuuza ebibuuzo nga bino wammanga: “Kino kikutegeeza ki ku Yakuwa? Kino kikwata kitya ku bulamu bwo? Oyinza otya okubikozesa okuyamba abalala?” Ekigendererwa kye kijja kuba okubayamba okuddamu okuviira ddala ku mutima, so si okubabuuza ensonga ezitali nkulu.
4 Akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa ka njawulo. Wadde ng’ebitabo byonna ebikubibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” bitendereza Yakuwa, akatabo kano kaakubibwa n’ekigendererwa eky’okunnyonnyola engeri za Yakuwa. (Mat. 24:45-47) Nga twesunga nnyo okuyiga okwo! Tujja kuganyulwa nnyo mu kwekenneenya engeri za Yakuwa. Ka okusoma kuno kutuyambe okweyongera okunyweza enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaffe ow’omu ggulu, era ka tweyongere okuyamba abalala okukola kye kimu.