Akatabo Funa Enkolagana Kajja Kusomebwa Okuva mu Jjanwali
1. Okutandika ne wiiki etandika nga Jjanwali 6, kiki ekinaatuyamba okwongera okusemberera Yakuwa?
1 Yakuwa ayagala tumusemberere. (Yak. 4:8) N’olwekyo, mu wiiki etandika nga Jjanwali 6, tujja kutandika okusoma akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa mu lukuŋŋaana olw’Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina. Ku bikwata ku kigendererwa ky’akatabo ako, olupapula olusooka lugamba nti: ‘Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’ayolekamu engeri ze, okwetegereza engeri Yesu Kristo gye yazikoppamu obulungi ennyo, era n’okumanya engeri naffe gye tuyinza okuzikoppamu kijja kutusobozesa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.’ Wayiseewo ekiseera ekiwerako bukya akatabo kano kasembayo okusomebwa mu bibiina. N’olwekyo eri abo abayize amazima mu myaka egyakayita, guno gwe gujja okuba omulundi gwabwe ogusooka okwekenneenya engeri za Yakuwa mu bujjuvu. Naffe abaakasoma, okuddamu okukasoma kijja kutuyamba okwongera okusiima engeri za Yakuwa.—Zab. 119:14.
2. Akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa tunaakasoma tutya?
2 Engeri Gye Tunaakasomamu: Akubiriza ajja kutandika n’ennyanjula ennyimpimpi, oboolyawo ya sentensi emu oba bbiri. Ajja kulondanga ebyawandiikibwa ebiggyayo ensonga enkulu ebirina okusomebwa. Bwe muba mufundikira, ayinza okubuuza ekibuuzo kimu oba bibiri okusobola okwejjukanya. Ekitundu ekiba kisomebwa bwe kibaamu akasanduuko akalina omutwe “Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako,” ke kalina okukozesebwa mu kwejjukanya. Obudde bwe bubaawo ebimu ku byawandiikibwa ebiri mu kasanduuko ako bisobola okusomebwa, era akubiriza n’abuuza ebibuuzo abawuliriza basobole okubaako bye baddamu.
3. Bwe tunaaba tusoma akatabo ako, kiki kye tusaanidde okukola era lwaki?
3 Ganyulwa mu Bujjuvu: Ne bwe kiba nti wasoma akatabo ako, tegeka bulungi. Fuba okubaako by’oddamu. Bw’onookola bw’otyo, kijja kukusobozesa okutendereza Yakuwa, okujjukira by’onooba oyize, n’okuzzaamu abalala amaanyi. (Zab. 35:18; Beb. 10:24, 25) Bw’onoofumiitiriza ku ngeri za Yakuwa ez’ekitalo, ojja kwongera okumusemberera. (Zab. 77:11-13) Ate era, ojja kuba mumalirivu okugondera ebiragiro bye, n’okubuulirako abalala ebimukwatako.—Zab. 150:1-6.