Okusoma Akatabo Sinza Katonda
Sinza Katonda Omu Ow’Amazima kaakubibwa okusomebwa n’abappya nga bamazeeko akatabo Okumanya. Bwe tunaasoma akatabo kano mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina kijja kutuyamba okukakozesa obulungi mu buweereza era n’okweyongera okwagala n’okusiima Yakuwa n’ekibiina kye. Tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma akatabo Sinza Katonda?
Okukubiriza Okusoma: Olw’okuba tujja kusomanga essuula nnamba buli wiiki, abalabirizi abakubiriza okusoma ekitabo bajja kwetaaga okukozesa obulungi ebiseera. Tebajja kumala biseera bingi ku butundu obusooka, kibasobozese okuwaayo ekiseera ekiwerako ku bintu ebirala ebikulu ebiri mu ssuula. Okukubaganya ebirowoozo mu bimpimpi ku ebyo ebiri mu kasanduuko k’okwejjukanya ku nkomerero ya buli kusoma, kujja kuyamba abanaabaawo okujjukira ensonga enkulu.
Kyenkana, kimu kya kubiri eky’essuula ez’akatabo Sinza Katonda zirimu ebibuuzo eby’okukubaganyaako ebirowoozo n’okufumiitirizaako. Ebibuuzo eby’ekika ekyo bisangibwa ku mpapula 48-9. Tekyetaagisa kusoma bibuuzo ng’ebyo ng’obutundu busomebwa. Bwe biba bikubaganyizibwako ebirowoozo, omulabirizi asaanidde okulaba nti ebyawandiikibwa ebijuliziddwa bisomebwa era ne bikubaganyizibwako ebirowoozo ng’ebiseera bwe biba bibasobozesa.
Okuteekateeka nga Bukyali: Okuteekateeka obulungi okusoma, kisingawo ku kusazaako obusaza ku by’okuddamu. Okusaba awamu n’okufumiitiriza ku byawandiikibwa ebijuliziddwa tekitusobozesa kuteekateeka bya kuddamu kyokka, wabula, ekisinga obukulu, kijja kutusobozesa okuteekateeka emitima gyaffe. (Ezer. 7:10) Buli omu ku ffe ayinza okuzzaamu munne amaanyi ng’abaako kyaddamu ekizimba naye nga taddamu nsonga zonna eziri mu katundu.—Bar. 1:11, 12.
Okusoma akatabo Sinza Katonda, kijja kutusobozesa okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa era n’okuyamba abantu eb’emitima emirungi okutwegattako mu kumusinza. (Zab. 95:6; Yak. 4:8) Ka ffenna tuganyulwe mu bujjuvu mu nteekateeka eno ey’eby’omwoyo.