Beera Mutukuvu mu Mpisa Zo Zonna
1. Lwaki kikulu okuba abatukuvu mu mpisa zaffe zonna?
1 Ng’abaweereza ba Yakuwa Katonda omutukuvu, tusaanidde okubeera abatukuvu mu mpisa zaffe zonna. (1 Peet. 1:15, 16) Kino kitegeeza nti tulina okufuba okutuukana n’emitindo gya Yakuwa egy’empisa mu bulamu bwaffe. Olukuŋŋaana lwa disitulikiti olw’omwaka guno lujja kutuwa omukisa okwoleka empisa entukuvu mu bye tukola.
2. Tuyinza tutya okwoleka empisa ennungi nga tuli mu wooteeri?
2 Mu Wooteeri ne mu Bisulo: Maneja wa wooteeri emu omwasula abaali bagenze ku lukuŋŋaana olunene omwaka oguwedde yagamba: “Abajulirwa ba Yakuwa baali bantu balungi nnyo okusuza. . . . Twagala abantu nga mmwe okujja mu wooteeri yaffe.” Bwe tukolera ku magezi agatuweereddwa wammanga kijja kutuyamba obutayonoona linnya lyaffe eddungi: (1) Saba ebisenge byokka bye munaakozesa, era be musuza mu kisenge tebalina kusukka muwendo ogukkirizibwa. (2) Singa weesanga ng’ekisenge kye wasabye tojja kukikozesa, tegeerezaawo abo be kikwatako mu wooteeri. (3) Kolagana bulungi ne bannannyini kifo. (4) Tofumbira mu kifo singa kiba tekikkirizibwa era weewale kyonna ekiyinza okuviirako ekifo okukwata omuliro. (5) Leka w’osula nga wayonjo. (6) Fuba okwoleka ebibala eby’omwoyo ng’okolagana n’abo abakola mu wooteeri, naddala mu biseera we babeerera n’eby’okukola ebingi.—Bag. 5:22, 23.
3. Empisa z’Abajulirwa abato ziyinza zitya okukwata ku balala?
3 Empisa zaffe ennungi ziwa obujulirwa bw’amaanyi. Omwaka oguwedde Omujulirwa omu omuto mu ngeri ey’obuwombeefu yasaba omuwandiisi wa wooteeri olupapula n’ekkalaamu abeeko by’awandiika era oluvannyuma n’amwebaza. Kino kyakwata nnyo ku muwandiisi ono era n’agamba: “Kizibu nnyo okusanga abaana abalina empisa ennungi ennaku zino.” Naye mu mbeera ezimu, kirabiddwa nti abaana abamu bazannyira mu wooteeri, baleekaana oba oluusi ne baddukira mu nkuubo olw’okuba tebalina abagambako. Abazadde tebasaanidde kuleka baana baabwe kutaayaaya, naye bandibataddeko eriiso okukakasa nti empisa z’abaana baabwe ziweesa Yakuwa ekitiibwa.—Nge. 29:15.
4. Tuyinza tutya okufaayo ku balala nga tuli mu bifo omuliirwa emmere?
4 Ebifo Ebiriirwamu: Omwami omu aweereza mu kifo ekiriirwamu emmere ekiri okumpi n’awaali olukuŋŋaana olunene yagamba bw’ati: “Abajulirwa ba njawulo. Bassamu abalala ekitiibwa.” Empisa ennungi zizingiramu obutoogerera waggulu oba okuseka mu ngeri etaataaganya abalala abazze okulya emmere. Tulina n’okujjukira nti mu bifo ebimu mpisa ya mu kitundu okuwa akasiimo oyo aba atuweerezza. Ne bwe tuba nga tulya oba nga tunywa, tulina okubikola olw’okuweesa Katonda ekitiibwa.—1 Kol. 10:31.
5. Empisa ennungi mu kifo awali olukuŋŋaana zizingiramu ki?
5 Nga Tuli mu Lukuŋŋaana Olunene: Naddala tulina okweyisa obulungi ennyo nga tuli mu kifo awali olukuŋŋaana olunene. Osabibwa okukolaganira awamu n’abaaniriza, ku bikwata ku bifo awasimbibwa emmotoka n’aw’okutuula. (Beb. 13:17) Ab’omu maka basaanidde okutuula awamu mu kifo ky’okuleka abaana baabwe, nga mw’otwalidde n’abo abavubuse, okutuula ne bavubuka bannaabwe. Ebyuma ebikwata amaloboozi tebirina kuyungibwa ku mizindaalo. Kyokka bwe bikozesebwa tebirina kutaataaganya balala. Singa oyagala okukuba ebifaananyi, tolina kukozesa bimyanso bya kamera nga programu egenda mu maaso. Obusimu obw’omu ngalo busaanidde okuggibwako buleme kutaataaganya balala. Singa wabaawo akabenje konna, osabibwa okutegeeza abo abaaniriza oba abali mu Kitongole eky’Obujjanjabi Obusookerwako.
6. Engeri gye tweyisaamu nga tuli ku lukuŋŋaana olunene egulumiza etya Katonda?
6 Enneeyisa yaffe etwawulawo okuva ku balala era egulumiza Katonda waffe. (1 Peet. 2:12) Ku lukuŋŋaana olunene, byonna Abajulirwa ba Yakuwa bye bakola bitunuulirwa nnyo abantu abalala. N’olw’ekyo beera mumalirivu okubeera n’empisa entukuvu.
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
Yoleka Empisa Entukuvu
◼ Goberera amateeka gonna aga wooteeri
◼ Abaana basseeko eriiso
◼ Faayo ku balala