Yamba Abalala Okuzuula Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo
1 Wadde amadiini gonna gagamba nti gayamba abantu okuweereza Katonda naye enjigiriza zaago zaawukana nnyo. “Nnabbi,” Yesu, tayigirizangako nti amadiini gonna nguudo buguudo ez’enjawulo ezitutuusa mu bulokozi. (Yok. 7:40; Mat. 7:13, 14) Wadde nga yali amanyi nti abamu bandibadde bubeezi “n’ekifaananyi eky’okutya Katonda,” yali mukakafu nti abalala bandizudde era ne bagoberera eddiini ey’amazima.—2 Tim. 3:5; Yok. 4:23.
2 Abali ng’abo bayinza batya okutegeera amazima agakwata ku Katonda era ne bamusinza mu ngeri gy’asiima? Enjawukana mu njigiriza zisobola okumalibwawo singa bakkiriza okwesigama ku kitabo ekitubuulira amazima agakwata ku Mutonzi waffe. Ekitabo kino ye Baibuli. (Yok. 17:17) Wadde ng’abantu bangi bagoberera enzikiriza za bakadde baabwe oba ez’omu kitundu kyabwe, okusobola “okufuna enkolagana ennungi ne Katonda,” abawombeefu beetaaga okwekennenya ebyawandiikibwa bo bennyini n’okussa mu nkola bye bayiga. Bwe bakola bwe batyo, bafuna amaanyi agabasobozesa okulekayo emize emibi egitasanyusa Katonda.—Yak. 4:8, NW.
3 Brocuwa Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo—Olizudde? yeekenneenya enzikiriza ezicaase ennyo awamu n’obulombolombo. Bwe banaazigeraageranya n’Ekigambo kya Katonda, abantu ab’emitima emyesigwa bajja kuyambibwa okwekutula ku njigiriza zonna ezeekuusa ku ddiini ez’obulimba wadde nga bapikirizibwa ab’eŋŋanda oba abantu ab’omu kitundu.—Mat. 10:36; 2 Kol . 6:17, 18.
4 Amasomo abiri agasooka gawa ensonga lwaki kya magezi omuntu okukkiririza mu Baibuli era n’agitwala ng’omusingi ogwesigamizibwako mu kusinza okw’amazima. Amasomo 3, 4 ne 5 galaga Ebyawandiikibwa kye byogera ku ttwale ery’emyoyo, abafu, n’eby’obusamize. Amasomo agasigaddeyo gayamba abo abaagala okuyiga Baibuli okuzuula eddiini ey’amazima era ne gabakubiriza okussa mu nkola bye bayiga. Ebyokulabirako ebirimu ebitegeerekeka era ebyesigamiziddwa ku bye tumanyi, biggumiza amakulu g’ebyo ebyogerwako. Eyogera ku byokulabirako by’abo abeekutula ku bikolwa eby’obusamize, bw’etyo n’eraga nti Yakuwa ajja kuyamba abo abaagala okukola ekirungi n’okwewala ekibi.—Baf. 4:6; Yak. 4:7.
5 Abantu okuva mu mawanga ag’enjawulo, bakkiriza ‘okuyingira mu mulyango omufunda’ era ne batambulira mu kkubo erituusa mu bulamu obutaggwaawo. N’olwekyo, tulina ensonga nnungi okuba n’endowooza ennuŋŋamu mu buweereza bwaffe era ne mu Kigambo kya Katonda okukyusa obulamu bw’abantu. Okuyitira mu bigambo n’ebikolwa byaffe, ka tulage abalala nti kya muganyulo okubeera mu ddiini ey’amazima nabo basobole okufuna emikisa gya Yakuwa egy’olubeerera!—Mat. 7:13, 14; 2 Kol. 10:4, 5; Zab. 37:29.