LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 5/02 lup. 4
  • ‘Munyiikirenga Okukola Ebirungi’

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • ‘Munyiikirenga Okukola Ebirungi’
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Laba Ebirala
  • Yamba Abalala Okuzuula Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2008
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • “Byonna Bye Mukola Bikolebwenga mu Kwagala”
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • “Mubeerenga n’Empisa Ennungi mu b’Amawanga”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 5/02 lup. 4

‘Munyiikirenga Okukola Ebirungi’

1 Obulamu bw’Ekikristaayo butwaliramu ‘okunyiikira okukolera abalala ebirungi.’ (1 Bas. 5:15) Bwe tugenda mu nkuŋŋaana zaffe eza district, tufuna emikisa mingi okukolera abalala ebirungi. Mu nkuŋŋaana nga zino, abantu batwetegereza, era abo bonna be tusisinkana, babaako n’ekifaananyi kye bafuna okusinziira ku ngeri gye tubayisaamu. Okusobola okukuuma erinnya lyaffe ng’Abajulirwa ba Yakuwa nga ddungi, twetaaga okukyoleka mu bikolwa byaffe nti ‘tussa ekitiibwa mu bantu bonna.’ (1 Peet. 2:17) Ekyo kitwaliramu ‘obutatunuulira byaffe ffeka naye n’eby’abalala.’ (Baf. 2:4) Weetegereze engeri kino gye kikwata ku nteekateeka y’eby’ensula.

2 Okoze enteekateeka y’ebyensula? Onoosula mu wooteeri, mu kisulo ky’abaana oba mu kibiina kya bayizi? Lowooza ku by’okweyalira, eby’okulya, akatimba k’ensiri n’amazzi ag’okunywa amayonjo. Gondera ebiragiro by’essomero oba eby’ekifo kyonna ekirala w’ogenda okusula ebikwata ku kwewala akabenje k’omuliro. Mu bibiina bya bayizi n’ebisulo ebisinga, tekikkirizibwa okufumbiramu.

3 Okuyigiriza Abaana Okukola Ebirungi: Abaana tebalina kulekebwa bokka mu bifo ebisulibwamu nga tewali muntu mukulu abalabirira kubanga kino kiyinza okuleetawo ebizibu. (Nge. 29:15) Bwe wabaawo ekidiba ekiwugirwamu, oba ebifo ebirala byonna ebizannyirwamu, abaana tebalina kukkirizibwa kubigendamu, naddala nga tebali na bazadde baabwe. Bonna balina okwegendereza ne batatawaanya balala.

4 Abazadde, kyandibadde kirungi ng’olukuŋŋaana terunnatuuka, okuwaayo obudde ne munnyonnyola abaana bammwe empisa z’Ekikristaayo ze basuubirwa okuba nazo obudde bwonna era mu buli kifo. (Bef. 6:4) Ng’ekyokulabirako, balage nti okwagala kw’Ekikristaayo okutuufu, “tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga.” (1 Kol. 13:5) Abakulu bayinza okwoleka kino nga bateekawo ekyokulabirako ekirungi. Abaana, muyinza okunyiikira okukola ebirungi nga mugondera bazadde bammwe, nga mussa ekitiibwa mu bintu by’abalala, era nga mufaayo ku abo be muli nabo. (Bak. 3:20) Ffenna bwe tufuba okukolera abalala ebirungi, tuba ‘tuyonja okuyigiriza kw’Omulokozi waffe, Katonda, mu byonna.’​—Tito 2:10.

5 Enneeyisa yaffe ennungi tekoma ku kuwa kifaananyi kirungi eri abantu bonna okutwalira awamu kyokka, naye era erina kinene ky’ekola eri abo ababadde batuvumirira olw’ensonga emu oba endala. Mu byonna bye tukola nga tuli mu lukuŋŋaana oba mu kibuga omuli olukuŋŋaana olwo, enjogera yaffe ey’Ekikristaayo n’enneeyisa birina okulaga nti twagala okugoberera ekirungi, ka tubeere nga tutambula ku nguudo, nga tulya oba nga tuli mu ggandaalo mu wooteeri, mu kisulo ky’abaana, mu kibiina ky’abayizi, oba nga tubuulira mu ngeri ey’embagirawo.

[Akasanduuko akali ku lupapula 4]

Jjukira:

■ Beera mugumiikiriza era wa ekitiibwa abakozi b’omu kifo awali olukuŋŋaana.

■ Ku lw’obulungi bw’abagenyi bonna, gondera ebiragiro by’ekifo.

■ Weewale ekintu kyonna ekiyinza okuviirako omuliro okukwata.

■ Beera kalabalaba ku bikolwa by’abaana bo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza