LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 2/06 lup. 3-4
  • Tegeeza Abalala Ebikwata ku “Musana gw’Ensi”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tegeeza Abalala Ebikwata ku “Musana gw’Ensi”
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Similar Material
  • Mulangirire Wonna Obulungi bwa Yakuwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • ‘Buulira Ekigambo kya Katonda mu Bujjuvu’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Onooweereza nga Payoniya Omuwagizi?
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Kola Kati Enteekateeka ez’Okugaziya ku Buweereza Bwo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 2/06 lup. 3-4

Tegeeza Abalala Ebikwata ku “Musana gw’Ensi”

1. Ekigambo kya Katonda kyalagula ki ku musaana omungi, era mukolo ki ogw’enjawulo ogutukubiriza okutegeeza abalala ku musana guno?

1 Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yalagula nti: “Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye omusana mungi: abo abaatulanga mu nsi y’ekisiikirize ky’okufa omusana gubaakidde bo.” (Is. 9:2) ‘Omusana ogwo omungi’ gwalabikira mu ngeri Omwana wa Katonda Yesu Kristo gye yeeyisaamu. Omulimu ogw’okubuulira Yesu gwe yakola ng’ali wano ku nsi era n’emiganyulo egiva mu ssaddaaka gye yawaayo, byayamba abantu okuva mu kizikiza eky’eby’omwoyo. Omusana ogwo abantu gwe beetaaga mu kiseera kino eky’ekizikiza. Eky’ekiro kya Mukama Waffe kituwa omukisa okutegeeza abalala ku “musana gw’ensi.” (Yok. 8:12) Omwaka oguwedde, abantu bukadde na bukadde baayoleka okukkiriza nga batwegattako mu kugondera ekiragiro kya Yesu kino: “Mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.” (Luk. 22:19) Ng’omukolo ogw’okujjukira eky’Ekiro kya Mukama Waffe eky’omwaka guno gugenda gusembera, tuyinza tutya okwenyigira mu kutegeeza abalala ku musana omungi Yakuwa gw’atuwadde?​—Baf. 2:15.

2. Tuyinza tutya okweyongera okusiima ekinunulo, era kiki ekinaavaamu bwe tunaakola bwe tutyo?

2 Laga Okusiima: Ekiseera ky’Ekijjukizo kirungi nnyo okufumiitiririzaamu ku kwagala okw’ekitalo Yakuwa ne Yesu kwe baatulaga nga bakola enteekateeka ey’okununula olulyo ly’omuntu. (Yok. 3:16; 2 Kol. 5:14, 15) Awatali kubuusabuusa, okufumiitiriza okwo kujja kutuyamba okwongera okusiima omukolo guno omutukuvu. Abantu ba Katonda bonna, bandiwaddeyo ebiseera okusoma n’okufumiitiriza ku byawandiikibwa ebirina okusomebwa mu kiseera eky’Ekijjukizo ebiri mu katabo Okwekenneenya Ebyawandiikibwa Buli Lunaku. Okulowooza ku ngeri za Yakuwa ennungi ennyo ezeeyolekera mu nteekateeka ey’ekinunulo gye yakola, kituleetera okumwenyumiririzaamu nga Katonda waffe. Bwe tufumiitiriza ku ngeri gye tuganyulwa mu kinunulo, kituleetera okweyongera okwagala Katonda n’Omwana we era ne kitukubiriza okufuba okukola Katonda by’ayagala.​—Bag. 2:20.

3. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima Ekijjukizo?

3 Bwe tuneeyongera okusiima enteekateeka eyo Yakuwa gye yatukolera, era ne tulaga nti twesunga omukolo ogw’Ekijjukizo, abo be tuyigiriza Baibuli, be tuddiŋŋana, ab’eŋŋanda zaffe, baliraanwa baffe, bayizi bannaffe, be tukola nabo, era n’abalala be tunaayita nabo bajja kugwesunga. (Luk. 6:45) N’olwekyo, fuba okuyita abantu abo bonna, ng’obawa obupapula bwe tukozesa okuyita abantu okubeerawo ku Kijjukizo, bubayambe okujjukira. Ab’oluganda bangi bakisanze nga kirungi okutereka olukalala lw’amannya gaabo be bayita ku Kijjukizo, era buli mwaka bongerako amalala ku lukalala olwo, ekyo kibayamba okujjukira buli muntu gwe baagala okuyita. Olukalala olwo bwe luba nga lutegeke bulungi, era ne tufuba okuyita bonna abaluliko, kijja kulaga nti tusiima Yakuwa Katonda “olw’ekirabo kye ekitayogerekeka.”​—2 Kol. 9:15.

4. Kiki ekiyinza okutuyamba okwongera ku buweereza bwaffe mu mwezi gwa Maaki ne Apuli?

4 Okwongera ku Biseera bye Tumala mu Buweereza: Oyinza okwongera ku biseera by’onoomala mu buweereza mu mwezi gwa Maaki ne Apuli? Bw’onoofuba okubuulira abalala ku ‘njiri ey’ekitiibwa kya Kristo’ ojja kufuna emikisa gya Katonda. Yakuwa, Ensibuko y’ekitangaala eky’eby’Omwoyo yalagira nti: ‘ekitangaala kyake awabadde ekizikiza.’ (2 Kol. 4:4-6) Bwe kiba kyetaagisa, abakadde bajja kukola enteekateeka wabengawo enkuŋŋaana ez’okugenda mu nnimiro mu biseera ebitali bimu era ne mu bifo eby’enjawulo, era bafube okuwagira ababuulizi abaagala okubuulira ekiseera ekiwanvu. Enteekateeka eno eyinza okuzingiramu okubuulira ku makya ennyo, oba okubuulirira mu bifo ebikolerwamu bizineesi ne ku ssimu mu biseera eby’olweggulo oba akawungeezi. Ekijja okukuyamba okugaziya ku buweereza bwo, kwe kweteerawo ekiruubirirwa eky’essaawa z’oyagala okubuulira era n’okufuba okukituukiriza. Bangi bakizudde nti okuweereza nga payoniya omuwagizi kye kimu ku ebyo bye bakola okusobola okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi.​—Bak. 3:23, 24.

5. Bangi baganyulwa batya mu nteekateeka ey’okukendeeza ku ssaawa za bapayoniya abawagizi?

5 Oyinza Okukola nga Payoniya Omuwagizi? Waakayitawo emyaka musanvu bukya essaawa ezeetaagisibwa bapayoniya abawagizi zikendeezebwa. Ekyo kisobozesezza bangi okufuna ku ssanyu n’emiganyulo egiva mu kuweereza nga payoniya omuwagizi. Wali okozeeko nga payoniya omuwagizi? Abamu bagifudde mpisa yaabwe okuweereza nga bapayoniya abawagizi buli mwaka. Mu bibiina bingi, ababuulizi abawerako basalawo okukolera awamu nga bapayoniya abawagizi, era ebibiina ebyo bifuna emiganyulo mingi. Oyinza okukola enteekateeka okuweereza nga payoniya omuwagizi mu kiseera eky’Ekijjukizo? Omwezi gwa Apuli gujja kuba mulungi nnyo eri abamu, kubanga gulimu wiikendi ttaano.

6. Nteekateeka ki ennungi ezikoleddwa?

6 Ekibiina kyo kinaakyalirwa omulabirizi w’ekitundu mu mwezi gwa Maaki oba ogwa Apuli? Ojja kufuna omukisa ogw’enjawulo mu kiseera ekyo. Nga bwe kyalangirirwa gye buvuddeko awo, abo bonna abanaakola nga bapayoniya abawagizi mu mwaka ogw’obuweereza ogwa 2006 mu kiseera omulabirizi w’ekitundu wanaakyalira ekibiina kyabwe, bajja kubeerawo mu kitundu ekisooka eky’olukuŋŋaana bapayoniya lwe bafuna mu wiiki y’okukyala kwe. Awatali kubuusabuusa, emboozi eneeweebwa mu lukuŋŋaana luno ejja kukubiriza bangi ku abo abanaakola nga bapayoniya abawagizi okuba n’ekiruubirirwa eky’okukola nga bapayoniya aba bulijjo. Okugatta ku ekyo, mu mwezi gwa Maaki tujja kufuna essanyu eriva mu kuyamba abantu okufuna ekitangaala eky’eby’omwoyo nga tukozesa akatabo kaffe akapya Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Lwaki teweeterawo ekiruubirirwa eky’okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli ng’okozesa akatabo kano akapya?

7, 8. (a) Kiki ekiyinza okutuyamba okukola enteekateeka eneetusobozesa okuweereza nga bapayoniya abawagizi? (b) Miganyulo ki egivaamu amaka bwe gakolera awamu?

7 Bw’oba ng’olowooza ku ngeri y’okuwezaamu essaawa 50 z’olina okuwaayo nga payoniya omuwagizi, teekawo enteekateeka eneekusobozesa okubuuliranga essaawa 12 buli wiiki. Yogerako n’abo abaali bakozeeko nga bapayoniya abawagizi awamu n’abalala. Kino kiyinza okubakubiriza okukwegattako. Ababuulizi ababatize abakulu n’abato abakoze enteekateeka ennungi, bakisanze nga kyangu okutuukiriza ekiruubirirwa kino ekirungi. Saba Yakuwa akuyambe. Bwe kiba kisoboka, kola enteekateeka okole nga payoniya omuwagizi!​—Mal. 3:10.

8 Amaka mangi gakizudde nti singa gawagirayo waakiri omuntu omu mu maka gaabwe, aba asobola okutuukiriza ekiruubirirwa eky’okukola nga payoniya omuwagizi. Waliwo amaka agaasalawo nti ababuulizi abataano ababatize abagalimu beeweeyo okukola nga bapayoniya abawagizi. Abaana abalala ababiri abaali batannabatizibwa nabo baagaziya ku buweereza bwabwe. Amaka ago gaaganyulwa gatya? Baagamba nti: “Omwezi ogwo gwali mulungi nnyo, twawulira nga amaka gaffe geeyongedde okuba obumu. Twebaza Yakuwa olw’emikisa gye yatuwa!”

9. Tuyinza tutya okuleka omusana gwaffe okwaka mu kiseera eky’Ekijjukizo?

9 Obuweereza bwaffe mu mwezi ogwa Maaki ne Apuli bunaatuzzaamu amaanyi era ne tweyongera okuba n’enkolagana ennungi ne Kitaffe ow’omu ggulu? Kino kijja kusinziira ku ngeri gye twagalamu Katonda n’Omwana we era n’okugaziya ku buweereza bwaffe. Ka tubeere bamalirivu ng’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “N[n]eebazanga nnyo Mukama n’akamwa kange; weewaawo n[n]aamutenderezanga mu kibiina.” (Zab. 109:30) Yakuwa ajja kutuwa emikisa olw’okufuba kwaffe mu kiseera eky’Ekijjukizo omwaka guno. N’olwekyo, omusana gwaffe ka gweyongere okwaka abantu bangi basobole okuva mu kizikiza, ‘bafune omusana ogw’obulamu.’​—Yok. 8:12.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share