Yigiriza Abawombeefu Okutambulira mu Kkubo lya Katonda
1. Kiki ekizingirwa mu kufuula abalala abayigirizwa?
1 Abayigirizwa ba Kristo ab’omu kyasa ekyasooka baali bayitibwa “ab’ekkubo.” (Bik. 9:2) Omuntu okuba Omukristaayo ow’amazima kizingiramu ebyo byonna by’akola mu bulamu bwe. (Nge. 3:5, 6) N’olwekyo, bwe tuba tuyigiriza abantu Baibuli tetulina kukoma ku kubayigiriza ekyo Baibuli ky’egamba kyokka, wabula tulina n’okubayamba okutambulira mu kkubo lya Yakuwa.—Zab. 25:8, 9.
2. Kiki ekiyinza okukubiriza abayizi baffe aba Baibuli okukwata ebiragiro bya Katonda?
2 Okwagala Yakuwa ne Yesu: Nga kizibu nnyo abantu abatatuukiridde okutuukanya endowooza yaabwe, enjogera yaabwe, awamu n’enneeyisa yaabwe n’ekyo Katonda ky’ayagala! (Bar. 7:21-23; Bef. 4:22-24) Kyokka, okwagala Katonda n’Omwana kukubiriza abawombeefu okwaŋŋanga ekizibu ekyo. (Yok. 14:15; 1 Yok. 5:3) Tuyinza tutya okuyamba abayizi baffe aba Baibuli okukulaakulanya okwagala okwo?
3. Tuyinza tutya okuyamba abayizi ba Baibuli okukulaakulanya okwagala kwabwe eri Yakuwa ne Yesu?
3 Yamba omuyizi wo okutegeera Yakuwa. Ow’oluganda omu yagamba, “Abantu tebasobola kwagala muntu gwe batamanyi, n’olwekyo abayizi bange aba Baibuli mbayigiriza erinnya lya Katonda okuviira ddala ku ntandikwa, era nkozesa buli kakisa ke nfuna okwogera ku ngeri ze.” Okwogera ku kyokulabirako Yesu kye yassaawo, ngeri nnungi nnyo ey’okuyambamu abayizi okutegeera Yakuwa. (Yok. 1:14; 14:9) Okugatta ku ekyo, kozesa bulungi akasanduuko akalimu eby’okwejjukanya akali ku nkomerero ya buli ssuula mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza, okuyamba omuyizi wo okufumiitiriza ku ngeri za Katonda ez’ekitalo era n’ez’Omwana we.
4. (a) Lwaki abayizi bangi bazibuwalirwa okubuulira? (b) Tuyinza tutya okuyamba abayizi baffe okutandika okwenyigira mu buweereza obw’Ekikristaayo?
4 Bateerewo Ekyokulabirako Ekirungi: Ng’abasomesa, tuyamba abalala okutegeera engeri y’okutambulira mu kkubo lya Katonda okuyitira mu bikolwa byaffe. (1 Kol. 11:1) Ng’ekyokulabirako, abayizi ba Baibuli abasinga obungi tekibanguyira kutuukirira bantu be batamanyi okubabuulira ku nzikiriza zaabwe. N’olwekyo, kiyinza okutwetaagisa okuba abagumiikiriza era n’okukozesa amagezi okusobola okubayamba okuba n’okwagala, okukkiriza era n’obuvumu basobole okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abalala abayigirizwa. (2 Kol. 4:13; 1 Bas. 2:2) Olw’okuba twagala okuwa abayizi baffe obulagirizi, kijja kutukubiriza okubawagira nga batandise obuweereza bwabwe obw’Ekikristaayo.
5. Ekyokulabirako ekirungi kiyamba kitya abayizi okutegeera ebizingirwa mu kugondera amateeka ga Katonda?
5 Ekyokulabirako ky’ossaawo kisobola okubayamba okukulaakulanya engeri endala ez’Ekikristaayo. Bw’okyalira abalwadde oba n’obuuza ab’oluganda n’essanyu mu nkuŋŋaana, abayizi bo balaba okwagala kw’olina. (Yok. 15:12) Bwe weenyigira mu kuyonja Ekizimbe eky’Obwakabaka oba n’okolera abalala ebirungi, oba obayigiriza engeri y’okuweerezaamu abalala. (Yok. 13:12-15) Bwe balaba nga toyaayaanira kufuna bintu, bamanya kye kitegeeza ‘okusooka okunoonya obwakabaka.’—Mat. 6:33.
6. Kiki ekivaamu bwe tuyamba abawombeefu okuweereza Yakuwa?
6 Kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okuyigiriza abalala Ekigambo kya Katonda era n’okubafuula abayigirizwa. Naye nga kisanyusa nnyo okulaba abawombeefu “nga batambulira mu mazima”!—3 Yok. 4.