Okwejjukanya Ebikwata ku Kijjukizo
Ekijjukizo ky’omwaka guno kijja kubaawo ku Lw’Okusatu nga Apuli 12. Abakadde balina okwekenneenya ensonga zino wammanga.
◼ Nga mutegeka ekiseera eky’okukuŋŋaanirako, mukakase nti obubonero bujja kuyisibwa ng’enjuba emaze kugwa.
◼ Buli omu nga mw’otwalidde n’omwogezi, alina okutegeezebwa ekiseera kyennyini n’ekifo awanaabeera omukolo.
◼ Ekika ky’omugaati n’enviinyo ebisaanidde, birina okufunibwa era bitegekebwe.—Laba Watchtower aka Febwali 15, 2003, emp. 14-15.
◼ Essowaani, amagiraasi, emmeeza esaana awamu n’ekitambaala kyakwo birina okuleetebwa awanaaba omukolo era bitegekebwe nga bukyali.
◼ Ekizimbe ky’Obwakabaka oba ekifo ekirala kyonna eky’okukuŋŋaaniramu kirina okuyonjebwa obulungi ng’olunaku terunnatuuka.
◼ Abaaniriza abagenyi n’abanaaweereza obubonero balina okulondebwa era n’okutegeezebwa nga bukyali ebikwata ku mirimu gyabwe, enkola eneegobererwa, awamu n’ennyambala n’okwekolako ebinaaweesa omukolo ekitiibwa.
◼ Enteekateeka zirina okukolebwa okutwala obubonero eri eyafukibwako amafuta yenna ataasobole kubeerawo olw’obulwadde.
◼ Bwe kiba nti ebibiina ebisukka mu kimu bijja kukozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka kye kimu, bisaanidde okukola enteekateeka ennungi waleme kubaawo mujjuzo ku mulyango, mu luggya, n’awasimba emmotoka.