LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 3/06 lup. 8
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Similar Material
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Bye Tuyinza Okwogera Nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 3/06 lup. 8

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Feb. 15

“Singa wali wa kulonda omuntu ow’okufuga ensi, ani gwe wandironze? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga ebisaanyizo Masiya by’alina, era nga Katonda gw’alonze okufuga ensi. Ate era eyogera ku ekyo obufuzi bwe kye bunaakolera olulyo lw’omuntu.” Soma Isaaya 9:6, 7.

Awake! Feb.

“Leero, abantu basinza bakatonda bangi. Kyokka, weetegereze ekyo Yesu kye yayogera ku Kitaawe ow’omu ggulu bwe yali ng’asaba. [Soma Yokaana 17:3.] Bwe waba nga waliwo Katonda omu yekka ow’amazima, kati ate olwo kiri kitya eri bakatonda abalala abasinzibwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kiraga Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno.” Mulage ekitundu ekiri ku mpapula 28-9.

The Watchtower Mak. 1

“Abantu abasinga obungi bakkiriza nti tuteekwa okwagalana nga Yesu bwe yalagira mu kyawandiikibwa kino. [Soma Yokaana 13:34, 35.] Olowooza eriyo abantu abassa mu nkola ebyo Yesu bye yayigiriza? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga engeri gye tuyinza okwawulawo Abakristaayo ab’amazima leero.”

Awake! Mak.

“Kikulu nnyo okuba n’okwagala bwe tuba ab’okubeera abasanyufu. Kyokka, abantu bangi tebalagibwa kwagala kwa nnamaddala. Olowooza lwaki kiri bwe kityo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekiyinza okutuyamba okulagibwa okwagala okwa nnamaddala, kwe kulaga abalala okwagala okutali kwa kwerowoozaako. Magazini eno ennyonnyola ebizingirwamu.” Soma 1 Abakkolinso 13:4-7.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share