Faayo ku Bantu—ng’Obalaga Ekisa
1 “Yakuwa wa kisa.” (Zab. 145:8) Wadde nga ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna, wa kisa, afaayo era assa ekitiibwa mu bantu abatatuukiridde bw’aba akolagana nabo. (Lub. 13:14; 19:18-21, 29) Tusobola okulongoosa mu ngeri gye twanjulamu amawulire amalungi nga tukoppa Katonda waffe ow’ekisa. (Bak. 4:6) Kino tekikoma ku kubeera bakkakkamu oba okwogera mu ngeri ewa abalala ekitiibwa.
2 Mu Kubuulira Nnyumba ku Nnyumba: Watya nga tukyalidde ne tumusanga nga talina biseera kutuwuliriza? Kiba kirungi ne tuyita mu bimpimpi oba ne tumugamba nti tunadda olulala. Tetusaanidde kuwaliriza bantu kutwala bitabo byaffe bwe baba nga tebabyagala. Tusobola n’okulaga nti tufaayo ku bintu byabwe gamba ng’okuzzaawo geeti oba enzigi zaabwe era ne tutendeka abaana baffe okukola kye kimu. Bwe tuleka akatabo konna mu maka gye tutasanze bantu twandikakasizza nti abalala tebayinza kukalaba. Mu butuufu okulaga ekisa kijja kutuleetera okuyisa abalala nga bwe twandyagadde batuyise.—Luk. 6:31.
3 Mu Kubuulira ku Nguudo: Bwe tuba tubuulira ku nguudo kiba kya buntu bulamu obutaziba kkubo oba okwekumira mu kifo abalala we bakolera bizineesi. Ate era tulaga nti tufaayo ku mbeera z’abalala nga twogera n’abo abalabika nga balinawo akaseera mu kifo ky’okwogera n’abo abalabika nga bali mu bwangu. Oluusi bwe wabaawo ebireekaana, kiyinza okutwetaagisa okwogererako waggulu so si mu ngeri eyinza okuwugula abalala.—Mat. 12:19.
4 Okubuulira ku Ssimu bwe Kiba Kisoboka: Bwe tuba tufaayo ku balala, tetujja kubeera mu kifo awali ebireekaana nga tubuulirira ku ssimu. Singa tweyanjulirawo era ne tubategeeza n’ensonga etukubisizza essimu, kiba kyoleka empisa ennungi. Singa twogera mu ddoboozi eriwulikika obulungi, tusobola okukubaganya ebirowoozo n’omuntu ku Byawandiikibwa mu ngeri ezimba. (1 Kol. 14:8, 9) Bwe tuba ab’ekisa, nga tufaayo era nga tuwa abalala ekitiibwa, tuba tukoppa Yakuwa Katonda ow’ekisa.