Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jun. 15
“Okyetegerezza nti abantu bangi leero bagoberera emitindo egyabwe ku bwabwe egikwata ku kituufu n’ekikyamu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ka nkulage ekyokulabirako okuva mu Baibuli ekikwata ku bulagirizi obutava ku mulembe. [Soma ekyawandiikibwa ekiri mu kasanduuko ku lupapula 6-7.] Magazini eno eraga engeri gye tuganyulwamu bwe tugoberera emitindo gya Baibuli egy’empisa.”
Awake! Jun.
“Ffenna twetaaga ssente okusobola okweyimirizaawo. Olowooza kisoboka okwemalira ennyo ku kunoonya ssente? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyawandiikibwa kino kye kyogera ku ebyo ebiva mu kuluubirira eby’obugagga. [Soma 1 Timoseewo 6:10.] Magazini eno ewa amagezi ku ngeri gye tuyinza okwerekerezaamu ebintu ebimu ne kiba nti twetaaga ssente ntono okusobola okweyimirizaawo.”
The Watchtower Jul. 1
“Wali weebuuzizzaako ensonga lwaki abantu bayisibwa bubi olw’okuba ba langi ndala oba ba ggwanga ddala oba olw’okuba boogera olulimi olulala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekyawandiikibwa kino kye kigamba. [Soma 1 Yokaana 4:20.] Magazini eno eddamu ekibuuzo ekigamba nti, kisoboka abantu ab’amawanga ag’enjawulo okuba obumu?”
Awake Jul.
“Obutafaananako bisolo ebikolera ku magezi agaabitonderwamu, abantu balina obusobozi bw’okwesalirawo emitindo gye banaagoberera mu bulamu. Olowooza ludda wa gye tuyinza okuggya obulagirizi obwesigika? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Zabbuli 119:105.] Magazini eno ennyonnyola ensonga lwaki obulagirizi obusangibwa mu Baibuli businga obulala bwonna.”