LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 9/07 lup. 4
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazin

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazin
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Similar Material
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
km 9/07 lup. 4

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazin

The Watchtower Agu. 15

“Nandyagadde okumanya endowooza yo ku nsonga eno. [Soma Abaebbulaniya 3:4.] Okikkiriza nti waliwo Eyatonda obutonde bwonna era nga w’amagezi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola obanga okukkiririza mu Mutonzi kikwatagana ne sayansi omutuufu.”

Awake! Agu.

Bw’osanga omuvubuka, oyinza okugamba: “Bangi ab’emyaka gyo bayisiddwa bubi olw’okwogerwako eby’obulimba. Ekyo kyali kikutuuseeko? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli ewa amagezi amalungi agasobola okutuyamba singa tuba twogeddwako eby’obulimba. Era eraga n’engeri gye tuyinza okwewala okugeya abalala.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 12, era omusomereyo ekimu ku byawandiikibwa ebiri mu kitundu ekyo.

The Watchtower Seb. 1

“Bangi bagamba nti ‘Endagaano Enkadde’ erimu ebyafaayo eby’omuganyulo. Naye beebuuza obanga ddala ebirimu bisobola okutuyamba leero. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Abaruumi 15:4.] Magazini eno eraga engeri ‘Endagaano Enkadde’ gy’eyinza okutuyamba mu bulamu bwaffe obwa bulijjo era n’okutuwa essuubi eryannamaddala ery’omu biseera eby’omu maaso.”

Awake! Seb.

“Olowooza Katonda y’aleeta obutyabaga bw’obutonde? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Ekyamateeka 32:4.] Magazini eno ewa ensonga lwaki Katonda akkiriza obutyabaga bw’obutonde okubaawo. Era eraga n’engeri gy’oyinza okukuumamu ab’omu maka go.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share