LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 9/02 lup. 8
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Similar Material
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazin
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 9/02 lup. 8

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Agu. 15

“Obwesigwa obusingirayo ddala okubeera obw’ekika ekya waggulu, olowooza bwe buluwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eggumiza okubeera omwesigwa eri Katonda omu ow’amazima. [Bikkula ku lupapula 5, era osome 2 Samwiri 22:26.] Obadde okimanyi nti okubeera omwesigwa eri Katonda kiyinza okuyamba abantu obuteeyisa mu ngeri etali ya kwagala eri abalala? Ndi mukakafu nti ojja kunyumirwa okusoma ku nsonga eyo.”

Awake! Agu. 22

“Wali okirowoozezzaako nti abantu boonoonye nnyo obutonde bw’ensi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekisinze okuleetawo ekizibu ekyo, kwe kukozesa obubi ebintu. Yesu yayigiriza abayigirizwa be obutakozesa bubi bintu. [Soma Yokaana 6:12.] Magazini eno eraga engeri okugoberera emisingi gya Baibuli gye kiyinza okuyamba abantu okwewala omuze ogw’okumala gasuulasuula ebintu.”

The Watchtower Seb. 1

“Weetegereza nti mu bifo bingi abantu tebakyamanyi baliraanwa baabwe nga bwe kyalinga edda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Yesu yayogera ku musingi oguyinza okugobererwa okusobola okubeera muliraanwa omulungi. [Soma Matayo 7:12.] Ebitundu bino biraga engeri gye tuyinza okubeeramu baliraanwa abalungi era n’okukubiriza abalala okukola ekintu kye kimu.”

Awake! Seb. 8

“Abantu bangi leero tebamanyi wa bulamu gye bubatwala. [Soma Omubuulizi 9:11.] Ludda wa gye tuyinza okufuna obulagirizi obwesigika? [Muleke abeeko ky’addamu.] Abamu beeyuna bulaguzi. Eyo ye ngeri eyinza okukusobozesa okumanya ebinaakutuukako mu biseera eby’omu maaso? Ludda wa gy’oyinza okufuna obulagirizi obwesigika obukwata ku biseera eby’omu maaso? Awake! eno etuwa eky’okuddamu.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share