Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Agu. 15
“Abantu bangi baagala nnyo okwekolera erinnya eddungi. Abamu beebuuza engeri gye balijjukirwamu oluvannyuma lw’okufa. Ekyo wali okirowoozezzaako? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Omubuulizi 7:1.] Magazini eno eya Watchtower ennyonnyola engeri gy’oyinza okukolamu erinnya eddungi mu maaso g’abantu ne Katonda.”
Awake! Agu. 22
“Bw’oba wali okijjanyiziddwako oba omu ku b’omu maka gammwe, omanyi engeri gye kuleetamu obulumi. [Muleke abeeko ky’ayogera.] Magazini eno eya Awake! ewa amagezi eri abo abakijjanyizibwa. Era ennyonnyola ekisuubizo kya Katonda ekikwata ku kiseera obulamu bwe buliba nga tebuliimu bizibu nga bino.” Soma Mikka 4:4.
The Watchtower Seb. 1
Abantu bangi balowooza nti amadiini g’abantu makubo ag’enjawulo agatuusa mu kifo kimu. Abamu bagamba nti waliwo eddiini emu yokka ey’amazima. Kino wali okirowoozezzaako? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola olugero oluddamu ekibuuzo ekyo.” Mulage ebiri mu Matayo 13:24-30.
Awake! Seb. 8
“Emisono girina kinene kye gikola ku bulamu bw’abantu bangi leero. Abamu balowooza nti abantu batadde nnyo essira ku bye bambala n’endabika yaabwe ey’okungulu. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eya Awake! eraga endowooza etagudde lubege ekwata ku misono.” Soma Abakkolosaayi 3:12.