Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Agu. 15
“Tukusaba otuwe endowooza yo ku bigambo bya Yesu bino. [Soma Matayo 5:5.] Ekisuubizo kino bwe kinaatuukirizibwa, olowooza embeera eneeba ekyafaanana nga bw’eri kati ku nsi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga Baibuli ky’eyogera ku ngeri Yesu gy’analongoosaamu ensi. Eraga n’abo abalisikira ensi.”
Awake! Agu.
“Olowooza tuliddamu okulaba ku baagalwa baffe abaafa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekisuubizo kya Yesu kino ekikwata ku bafu. [Soma Yokaana 5:28, 29.] Ekitundu kino kiraga Baibuli kyeyogera ku kitutuukako bwe tufa.” Mulage ekitundu ekiri ku lupapula 28.
The Watchtower Seb. 1
“Abantu bangi leero tebakyayagala bikwata ku ddiini. Olowooza eky’okubeera munnaddiini kifuula omuntu okuba omulungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Baibuli kye yalagula ku ekyo abantu abamu kye baliba banoonya mu ddiini mu nnaku ez’oluvannyuma. [Soma 2 Timoseewo 4:3, 4.] Magazini eno eraga engeri okusinza okw’amazima gye kuweesaamu Katonda ekitiibwa era n’emiganyulo gye tufunamu.”
Awake! Seb.
“Abantu bangi beebuuza oba nga okukkiririza mu Katonda kikwatagana ne sayansi. Gwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Abaebbulaniya 3:4.] Awake! eno ey’enjawulo ewa ensonga ezireetedde bannasayansi abamu okukkiririza mu Mutonzi.”