Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Agu. 15
“Leero, abantu bangi banoonya amagezi okuva mu buli nsonda agakwata ku bufumbo n’okukuza abaana. Gwe olowooza amagezi amalungi gayinza kusangibwa wa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Watchtower eno ewa agamu ku magezi amalungi agakwata ku bulamu bw’amaka agatuweebwa Omutonzi.” Soma Zabbuli 32:8.
Awake! Agu. 22
“Olowooza kikulu kwenkana wa bataata okufaayo ku baana baabwe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Awake! eno ennyonnyola ebizibu ebibaawo bataata bwe batafaayo ku baana baabwe. Ate era ennyonnyola engeri bataata gye bayinza okuyambamu abaana baabwe.” Soma Engero 13:1.
The Watchtower Seb. 1
“Ffenna twagala okubeera abasanyufu. Olowooza ebintu ebyogerwako wano biyinza okutuleetera essanyu erya nnamaddala? [Soma Matayo 5:4a, 6a, 10a. Oluvannyuma muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola amakulu g’ebigambo Yesu bye yakozesa mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi era n’eraga n’ebirala ebyetaagisa okusobola okuba omusanyufu.”
Awake! Seb. 8
“Kigambibwa nti omuntu 1 ku buli bantu 4 afuna obulwadde bw’obwongo ebiseera ebimu mu bulamu bwe. Bangi ku ffe tumanyiiyo omuntu ali bw’atyo. [Bikkula awali ekitundu.] Ekitundu kino kiwa ebirowoozo ebirungi ku ekyo kye tuyinza okukola singa omwagalwa waffe ali mu mbeera bw’etyo.”