Akasanduuko k’Ebibuuzo
◼ Kisaanira abawuliriza okukuba mu ngalo buli luvannyuma lw’ekitundu ekiba kiweereddwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda ne mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza?
Yakuwa Katonda bwe yatonda ensi, ‘emmunyeenye ez’enkya zaayimbira wamu, n’abaana ba Katonda bonna ne boogerera waggulu olw’essanyu.’ (Yobu 38:7) Abaana ba Katonda bano ab’omwoyo baayagala okutendereza Yakuwa olw’omulimu gwe ogw’ekitalo gwe yali akoze, ogwali gwongera okwoleka amagezi ge, obulungi bwe, n’amaanyi ge.
Kirungi okusiima baganda baffe olw’okufuba okutegeka emboozi zaabwe n’ebyokulabirako. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tukuŋŋaanye wamu mu ngeri ey’enjawulo, gamba nga tuli mu nkuŋŋaana ennene n’eza disitulikiti, tutera okukuba mu ngalo oluvannyuma lw’emboozi n’ebyokulabirako. Ab’oluganda baba bakozesezza ebiseera bingi nga bategeka emboozi ezo n’ebyokulabirako. Bwe tukuba mu ngalo tuba tulaga nti tusiima omwogezi awamu n’obulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye n’ekibiina kye.—Is. 48:17; Mat. 24:45-47.
Ate kiri kitya ku kukuba mu ngalo buli luvannyuma lw’ekitundu ekiba kiweereddwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda ne mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza? Tewaliiwo biragiro bitugaana kukuba mu ngalo kasita kiba nga kikoleddwa mu bwesimbu, gamba ng’oluvannyuma lw’omuyizi okuwa emboozi ye esooka mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Wadde kiri kityo, okukuba mu ngalo kusobola okufuuka ekikolwa eky’okutuusa obutuusa oluwalo. N’olwekyo, mu mbeera eza bulijjo, tetukuba mu ngalo buli luvannyuma lwa kitundu ekiba kiweereddwa mu nkuŋŋaana ng’ezo.
Wadde nga tuyinza obutakuba mu ngalo buli luvannyuma lwa kitundu ekiba kiweereddwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda oba mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza, waliwo engeri endala gye tusobola okwolekamu okusiima olw’ebyo ebituyigirizibwa era n’olw’okufuba kw’abo abakubiriza ebitundu ebyo. Kino tusobola okukikola nga tussaayo omwoyo eri aboogezi. Ate era, oluvannyuma lw’olukuŋŋaana, tusobola okutuukirira abo ababadde n’ebitundu ne tubeebaza olw’okufuba kwabwe.—Bef. 1:15, 16.