Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Nov. 1
“Olowooza obufumbo buyinza okuba obunywevu singa abaami n’abakyala bassa mu nkola okubuulirira kwa Baibuli kuno? [Soma Yobu 31:1. Oluvannyuma omuleke abeeko ky’addamu.] Ekitundu kino kyogera ku misingi gya Baibuli egiyinza okuyamba abafumbo okunywerera ku bweyamo bwe baakola nga bayingira obufumbo.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 18.
Awake! Nov.
“Abantu bangi bakikkiriza nti ebyo ebiri mu gayanja aganene byeyongedde okusaanyizibwawo. Olowooza gavumenti z’abantu zinaasobola okugonjoola ekizibu ekyo? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Matayo 6:10.] Ekitundu kino kyogera ezimu ku nsonga ezeeraliikiriza abantu era n’engeri Katonda gy’anaazigonjoolamu.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 20.
The Watchtower Des. 1
“Mu kiseera kino eky’omwaka, abantu bangi baba balowooza ku Yesu. Ekyo ky’omanyi ku Yesu kikutte kitya ku bulamu bwo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli etukubiriza okugoberera ekyokulabirako kya Yesu. [Soma 1 Peetero 2:21.] Bwe tukigoberera, tweyongera okufuuka abantu abalungi era abasanyufu. Magazini eno ennyonnyola ensonga lwaki kino kisoboka.”
Awake! Des.
“Okumala ebyasa bingi abantu babadde beebuuza ekibuuzo kino. [Mulage ekibuuzo ekiri kungulu ku magazini.] Olowooza ludda wa gye tuyinza okufuna eky’okuddamu ekimatiza? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ensonga lwaki Katonda yekka y’asobola okutuwa eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo. [Soma Zabbuli 100:3.] Magazini eno eraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno.”