Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jjuuni 1
“Abantu bangi balaguzisa emmunyeenye nga tebannabaako kye basalawo. Olowooza emmunyeenye zirina kye zikola ku bulamu bwaffe? [Muleke abeeko ky’addamu.] Ekyewuunyisa kiri nti, Baibuli eyogera ku abo abaalaguzisanga emmunyeenye. [Soma 2 Bassekabaka 23:5.] Ekitundu kino kiraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 18.
Awake! Jjuuni
“Bannaddiini batera okusaba ssente nga bagenda okubatiza, okugatta abagole, n’okusabira abafu. Olowooza ekyo kye bakola kituufu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ebiragiro bino Yesu bye yawa abayigirizwa be. [Soma Matayo 10:7, 8b.] Ekitundu kino kiraga ekyo Baibuli ky’eyogera ku bikwata ku ssente bannaddiini ze basaba nga balina kye bakukoledde.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 22.
The Watchtower Jjulaayi 1
“Abantu bangi bwe baba boogera ku Muyinza w’Ebintu Byonna bamuyita buyisi Katonda. Obadde okimanyi nti Baibuli etubuulira erinnya lya Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu, oluvannyuma soma Isaaya 42:8a.] Magazini eno ennyonnyola lwaki erinnya lya Katonda lyagibwa mu nzivvuunula za Baibuli ezimu era n’omugaso oguli mu kumanya erinnya eryo.”
Awake! Jjulaayi
“Eby’enfuna bireetedde abantu okweraliikirira ennyo. Abo abatakyalina mirimu bennyamivu, n’abo abagirina beeraliikirira okufiirwa emirimu gyabwe. Olowooza gano magezi malungi agasobola okutuyamba? [Soma Matayo 6:34, era omuleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno etuwa amagezi ku ngeri y’okukozesaamu obulungi ssente zaffe era n’obuteeraliikirira nnyo.”