Beera Mwegendereza ng’Oli mu Buweereza
1. Lwaki tusaanidde okubeera abeegendereza nga tuli mu buweereza?
1 “Ng’endiga wakati mu misege,” abaweereza ba Katonda babuulira “mu mulembe guno ogwakyama.” (Mat. 10:16; Baf. 2:15) Obwegugungo, ebikolwa eby’obukambwe, n’okuwamba abantu bicaase nnyo, era biraga nti abantu ababi ‘beeyongeredde ddala okuba ababi.’ (2 Tim. 3:13) Misingi ki egy’omu Byawandiikibwa eginaatuyamba ‘okubeera abeegendereza’ nga tuli mu buweereza?—Mat. 10:16.
2. Mbeera ki eyinza okukwetaagisa okuva mu kitundu mw’obadde obuulira n’ogenda mu kirala?
2 Kozesa Amagezi: Engero 22:3 walaga nti kya magezi ‘okwekweka’ oba okwewala akabi. Beera bulindaala! Embeera ebadde ennungi mu kitundu kye tubuuliramu eyinza okukyuka embagirawo. Oyinza okulaba nga waliwo abasirikale bangi abazze oba nga abantu beeyiye ku nguudo. Oluusi oyo gw’oba obuulira bw’aba ow’ekisa ayinza okukulabula. Mu kifo ky’okulinda ng’oyagala okwetegereza ekigenda mu maaso, kiba kya magezi okuvaawo amangu ddala n’ogenda awalala.—Nge. 17:14; Yok. 8:59; 1 Bas. 4:11.
3. Omusingi oguli mu Omubuulizi 4:9 guyinza kutuyamba gutya mu buweereza bwaffe?
3 Mukolere Wamu: Omubuulizi 4:9 wagamba nti: “Babiri basinga omu.” Oyinza okuba nga wamanyiira okubuulira wekka n’otafuna kizibu kyonna, naye kiri kitya mu kiseera kino? Mu bitundu ebimu kikyasoboka. Naye mu bitundu ebirala, kiba kya kabi nnyo mwannyinaffe oba omubuulizi akyali omuto okubuulira nnyumba ku nnyumba ng’ali yekka, nnaddala ng’enjuba emaze okugwa. Ebibaddewo biraga nti kikulu nnyo okubuulira nga muli babiri era nga munno afaayo okwetegereza embeera eriwo. (Mub. 4:10, 12) Faayo ku babuulizi abalala be mubuulira nabo. Weemanyiize okutegezaako abalala, ng’ogenda kuva mu kitundu mwe mubuulira.
4. Kiki kye tulina okukola okukasa nti ffenna abali mu kibiina tetutuukibwako buzibu?
4 Olw’okuba ‘batunula olw’obulamu bwaffe,’ abakadde balina obuvunaanyizibwa obw’okutuwa obulagirizi okusinziira ku mbeera ebaawo mu kitundu. (Beb. 13:17) Yakuwa ajja kutuwa emikisa bwe tunaaba abawombeefu ne tugoberera obulagirizi bwe batuwa. (Mi. 6:8; 1 Kol. 10:12) Ffenna abaweereza ba Katonda ka tweyongere okuwa obujulirwa mu bujjuvu mu kitundu kyaffe, naye nga bulijjo tuba beegendereza.