Amaka Go Geeteekerateekera Okuwonawo?
1 Obunnabbi bwa Bayibuli obumaze okutuukirizibwa buwa obukakafu obwenkukunala nti enkomerero y’ensi eno embi eneetera okutuuka. Kati tuli mu biseera ebizibu ennyo ebifaananako n’ebyo ebyaliwo ng’amataba tegannabaawo. (Mat. 24:37-39) Nuuwa yawonawo ng’ensi ey’edda ezikirizibwa kubanga ‘yatambulira wamu ne Katonda ow’amazima.’ (Lub. 6:9) Nuuwa ateekwa okuba nga yayigiriza ab’omu maka ge amakubo ga Yakuwa kubanga nabo baawonawo. Tuyinza tutya okukoppa Nuuwa era ne tweteekateeka ng’amaka okusobola okuwonawo ng’enteekateeka y’ebintu eno embi ezikirizibwa?
2 Omubuulizi w’Obutuukirivu: Nuuwa yali ‘mubuulizi wa butuukirivu’ okumala emyaka nga 40 oba 50. (2 Peet. 2:5) Abantu be yalimu, oboolyawo nga bakubirizibwa bamalayika abajeemu abaali beeyambazza emibiri gy’abantu, bateekwa okuba nga baamusekerera olw’okuba yali abuulira. Emirundi mingi bwe tuba tubuulira tusanga abantu abateefiirayo oba abatusekerera. Kino kiwa obukakafu nti enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno eri kumpi nnyo. (2 Peet. 3:3, 4) Kyokka, obutafaananako bantu abaaliwo mu kiseera kya Nuuwa, bangi leero bawulira obubaka bwaffe era ‘bakulukutira’ mu kusinza okw’amazima. (Is. 2:2) Bwe tuneeyongera okubuulira, tujja ‘kwerokola era tulokole n’abo abatuwuliriza.’ (1 Tim. 4:16) Nga kikulu nnyo abazadde okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku bukulu bw’omulimu gw’okubuulira nga bayitira mu bigambo ne mu kyokulabirako kye babateerawo!—2 Tim. 4:2.
3 “Bw’Atyo” Bwe Yakola: Nuuwa n’ab’omu maka ge baawonawo olw’okuba baagoberera obulagirizi bwa Yakuwa. (Lub. 6:22) Kikulu nnyo naffe leero okuba ‘abawulize’ nga tugoberera obulagirizi obuli mu Bayibuli awamu n’obwo obutuweebwa omuddu omwesigwa. (Yak. 3:17) Taata omu yakolera ku magezi agatuweebwa ekibiina kya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, buli wiiki yakubirizanga Okusinza kw’Amaka era buli wiikendi yatwalanga ab’omu maka ge okubuulira nga bwe tukubirizibwa okukola. Buli wiiki yafubanga okubuulirako n’omu ku baana be. Okufuba ‘okukola bw’atyo’ kirina kinene nnyo kye kyakola ku baana be, era bonna omukaaga baakula ne bafuuka abaweereza ba Yakuwa abeesigwa.
4 Enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu ejja kujjira mu kiseera kye tutagisuubiriramu. (Luk. 12:40) Bwe tukoppa Nuuwa era ne twoleka okukkiriza okunaatusobozesa okulokolebwa, tujja kulaga nti ffe awamu n’ab’omu maka gaffe twetegekedde okuwonawo!—Beb. 11:7.