Abajulirwa ba Yakuwa Booleka Okukkiriza Kwabwe, Ekitundu 2: Ekitangaala Ka Kyake
Oluvannyuma lw’Ow’oluganda Rutherford ne banne okuyimbulwa mu kkomera mu 1919, Abayizi ba Bayibuli bonna awamu baalina omulimu omunene ogw’okukola. Nga bwe kiragibwa mu vidiyo eyitibwa Jehovah’s Witnesses—Faith in Action, Part 2: Let the Light Shine, Abayizi ba Bayibuli bandiziyiziddwa nnyo, bandyeyongedde okutegeera Ebyawandiikibwa, era n’okukkiriza kwabwe kwandyeyongedde okunywera. (Nge. 4:18; Mal. 3:1-3; Yok. 15:20) Oluvannyuma lw’okulaba vidiyo eno, osobola okuddamu ebibuuzo bino?
(1) Ngeri ki ez’enjawulo Abayizi ba Bayibuli ze baakozesa okubunyisa amawulire amalungi? (2) Biki ebyalangirirwa mu nkuŋŋaana za disitulikiti ezaaliwo mu 1931 ne 1935? (3) Kintu ki ekikulu ekyayogerwako mu Watchtower eya Noovemba 1, 1939? (4) Nnyonnyola ekyaliwo ku Madison Square Garden ng’Ow’oluganda Rutherford awa emboozi eyalina omutwe ogugamba nti: “Gavumenti n’Emirembe.” (5) Kintu ki ekikulu ekyayogerwako mu mboozi y’Ow’oluganda Knorr eyalina omutwe ogugamba nti: “Emirembe—Ginaaba gya Lubeerera?” (6) Mu 1942, nteekateeka ki Abajulirwa ba Yakuwa ze baakola okusobola okugaziya omulimu gwabwe ogw’okubuulira? (7) Egimu ku misango Abajulirwa ba Yakuwa gye baawangula mu Amerika, Canada, ne mu Buyonaani gye giruwa? (8) Essomero lya Gireyaadi lyayamba litya mu kugaziya omulimu gw’okubuulira? (9) Mulimu ki omukulu ogwatandikibwawo mu 1946, era lwaki? (10) Biki Abajulirwa ba Yakuwa bye baasalawo okusobola okukakasa nti empisa zaabwe zituukagana n’emitindo gya Bayibuli? (11) Yogera ezimu ku nkyukakyuka ezaakolebwa mu myaka gya 1970 okukakasa nti ekibiina kituukagana bulungi n’enteekateeka eyaliwo mu kibiina eky’omu kyasa ekyasooka. (12) Okulaba vidiyo eno kikuyambye kitya okwongera okutegeera nti kino kibiina kya Yakuwa era nti y’akiwa obulagirizi? (13) Vidiyo eno ekuyambye etya okweyongera okuba omumalirivu okubuulira n’obunyiikivu wadde ng’oziyizibwa? (14) Tuyinza tutya okukozesa vidiyo eno okuyamba ab’eŋŋanda zaffe, abayizi ba Bayibuli, n’abalala?
Buli lunaku oluyitawo waliwo ekipya ekyongerwa ku byafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa. Ebyafaayo biriraga nti ffe abaliwo mu kiseera kino twali banyiikivu mu buweereza? Nga baganda baffe bwe baakola, naffe ka tweyongere okuba abanyiikivu mu ‘kwakisa ekitangaala’!—2 Kol. 4:6.