LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 11/12 lup. 1
  • Sanyukiranga Ebirungi Ebiva mu Kufuba Kwo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Sanyukiranga Ebirungi Ebiva mu Kufuba Kwo
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Similar Material
  • Yakuwa Ayagala Abo ‘Ababala Ebibala n’Obugumiikiriza’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • “Mubalenga Ebibala Bingi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • ‘Katonda y’Akuza’!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Tolekera Awo Kukola Mulimu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 11/12 lup. 1

Sanyukiranga Ebirungi Ebiva mu Kufuba Kwo

1. Kiki ekiyinza okutumalamu amaanyi mu buweereza?

1 Omuntu bw’alaba ebirungi ebiva mu kufuba kwe, kimusanyusa. (Mub. 3:13) Kyokka bwe tulaba nti obuweereza bwaffe tebuvaamu kalungi konna, kiyinza okutumalamu amaanyi ne tulekera awo okubuulira n’obunyiikivu. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu?

2. Lwaki tetwandirowoozezza nti abantu bonna bajja kutuwuliriza?

2 Tosuubira nti Bonna Bajja Kukuwuliriza: Kijjukire nti wadde ng’abantu abakkiriza obubaka bwa Yesu baali batono, obuweereza bwe bwavaamu ebirungi bingi. (Yok. 17:4) Mu lugero lwe olukwata ku musizi, Yesu yalaga nti abantu abasinga obungi tebandikkirizza bubaka bw’Obwakabaka. (Mat. 13:3-8, 18-22) Wadde kiri kityo, okufuba kwaffe kuvaamu ebirungi bingi.

3. Tuyinza tutya ‘okubala ebibala’ wadde ng’abantu abasinga obungi tebasiima bubaka bwaffe?

3 Engeri Gye Tubala Ebibala Ebingi: Okusinziira ku lugero lwa Yesu, abo abakkiriza obubaka bw’Obwakabaka ‘babala ebibala.’ (Mat. 13:23) Omukristaayo tabala bibala ng’afuna abayigirizwa abapya kyokka, wabula nga yeeyongera okusiga ensigo z’Obwakabaka. Ekyo kivaamu ebirungi ebituleetera essanyu ka kibe nti abantu tebasiima bubaka bwaffe. Tuba tutukuza erinnya lya Yakuwa. (Is. 43:10-12; Mat. 6:9) Tuba n’enkizo ey’okukolera awamu ne Katonda. (1 Kol. 3:9) Ate era ekyo kiba ‘kibala eky’emimwa’ ekisanyusa ennyo Yakuwa.—Beb. 13:15, 16.

4. Birungi ki ebiyinza okuva mu buweereza bwaffe nga tetumanyi?

4 Okugatta ku ekyo, okufuba kwaffe kuyinza okuba nga kuvaamu ebirungi naye nga tetukimanyi. Kirabika abamu ku bantu abaawuliriza Yesu ng’abuulira baafuuka abayigirizwa be luvannyuma nga Yesu amalirizza obuweereza bwe obw’oku nsi. Mu ngeri y’emu, ensigo z’Obwakabaka ze tusiga ziyinza obutakulirawo mu mutima gw’omuntu, naye oluvannyuma ayinza okuyiga amazima nga tetutegedde. Mu butuufu, obuweereza bwaffe buvaamu ebirungi bingi. N’olwekyo, ka ffenna tweyongere “okubala ebibala bingi” tukirage nti tuli bayigirizwa ba Yesu.—Yok. 15:8.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share