Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira nga Tukozesa Essimu ez’Omu Bizimbe
Lwaki Kikulu: Kiyinza obutaba kyangu kubuulira nga tukozesa essimu ez’omu bizimbe. Kiki ekiyinza okutuyamba okubuulira n’obunyiikivu nga tukozesa enkola eyo? Kijjukire nti eyo eyinza okuba nga ye ngeri yokka ey’okutuusa amawulire amalungi ku bantu abamu. (Bar. 10:14) Waliwo ababuulizi abafunye ebirungi mu kukozesa enkola eno. (Laba akatabo Yearbook aka 2011, lup. 65, kat. 2–lup. 66, kat. 1 n’akatabo Yearbook aka 2000 lup. 54, kat. 3.)
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
Mu kusinza kw’amaka, mwegezeemu ku ngeri gye muyinza okukozesaamu enkola eno. Abo ababa beegezaamu buli omu asaanidde okukuba munne omugongo.