Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Omunaala gw’Omukuumi Maayi 1
“Singa walina obusobozi okuggyawo ebizibu ebiriwo mu nsi, kizibu ki kye wandisookeddeko? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli eraga nti Katonda anaatera okuggyawo ekizibu ekyo n’ebizibu ebirala byonna. [Musomere ekyawandiikibwa ekituukirawo gamba nga Danyeri 2:44; Engero 2:21, 22; Matayo 7:21-23; oba 2 Peetero 3:7.] Akatabo kano kalaga ekiseera Katonda lw’anaggyawo ebizibu n’engeri gy’anaakikolamu.”
Awake! Maayi
“Olowooza ekiseera kirituuka buli muntu n’aba n’ennyumba eyiye ku bubwe era nga tewali muntu mwavu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Katonda ky’asuubizza abantu. [Soma Isaaya 65:21-22.] Akatabo kano kalaga engeri Katonda gy’ajja okutuukirizaamu ebisuubizo bye n’engeri gye tujja okuganyulwamu.