LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb16 Agusito lup. 8
  • Yigiriza Amazima

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yigiriza Amazima
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Similar Material
  • Bye Tuyinza Okwogerako
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Tegeka Ennyanjula Yo ey’Okugaba Magazini
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Agusito lup. 8

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yigiriza Amazima

Okutandika ne Ssebutemba, akatabo Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe kajja kubangamu ekitundu ekigamba nti, “Yigiriza Amazima.” Ekitundu ekyo kijja kubangamu ennyanjula ez’okukozesa mu buweereza. Ekigendererwa ky’ennyanjula ezo kwe kutuyamba okubuulira abantu amazima agasookerwako nga tukozesa ekibuuzo n’ekyawandiikibwa.

Omuntu bw’anaabanga asiimye obubaka bwaffe, tujja kumulekeranga eky’okusoma oba okumulaga vidiyo. Tusaanidde okufuba okumuddira oluvannyuma lw’ennaku ntono tweyongera okukubaganya naye ebirowoozo. Ennyanjula zino empya n’emboozi ez’okuweebwanga abayizi bijja kuggibwanga mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?, mu kitundu ekiri ku nkomerero ya buli ssuula ekirina omutwe ogugamba nti, “Bye Tuyize.” Ekitundu ekyo kirimu ebibuuzo ebirala n’ebyawandiikibwa bye tusobola okukozesa nga tuzzeeyo eri omuntu oba bye tusobola okukozesa okuyigiriza omuntu nga tukozesa Bayibuli yokka.

Waliwo ekkubo limu lyokka erituusa mu bulamu. (Mat 7:13, 14) Okuva bwe kiri nti twogera n’abantu ab’amadiini ag’enjawulo n’embeera ez’enjawulo, buli omu tusaaanidde okumubuulira ekyo ekinaamusikiriza. (1Ti 2:4) Gye tunaakoma okutegeera ebiri mu Bayibuli n’okukuguka mu kuyigiriza “ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu,” gye tujja okukoma okufuna essanyu n’okuyamba abantu okuyiga amazima.​—2Ti 2:15.

Ow’oluganda ng’asomera omuvubuka ekyawandiikibwa

KOZESA ENNYANJULA EMPYA . . .

  • ng’obuulira nnyumba ku nnyumba

  • ng’obuulira embagirawo

  • okutandika okuyigiriza omuntu Bayibuli

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share