Okutandika n’omwezi guno, olukuŋŋaana olwa wakati mu wiiki terujja kubeerangamu ennyanjula ssatu ez’enjawulo nga bwe kibadde. Mu kifo ky’ekyo, mu katabo k’enkuŋŋaana mujja kubeerangamu ekibuuzo eky’okutandikirako okubuulira omuntu, ekyawandiikibwa, era n’ekibuuzo ekirala kye tunaddamu nga tuzzeeyo. Buli wiiki tujja kulabanga vidiyo emu eraga kye tuyinza okwogerako nga tubuulira. Buli mubuulizi ajja kwesalirangawo akatabo ak’okokukozesa okuyigiriza omuntu na ddi lw’anaatandika okukakozesa. Ayinza okusalawo okutandika okukakozesa ku mulundi ogusooka oba ng’azzeeyo. Ate era akatabo k’enkuŋŋaana kajja kubangamu okuddiŋŋana kwa mirundi ebiri. Enkola eno ejja kutuyamba okusa essira ku kigendererwa kyaffe eky’okuyigiriza “abo bonna [abalina] endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.”—Bik 13:48.
Abanaawebwanga Eby’Okukola: Okuggyako nga kiragiddwa bulala, abanaawebwanga eby’okukola mu kitundu Buulira n’Obunyiikivu, bajja kulaganga ekyokulabirako ku pulatifoomu.