OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okukubiriza Abantu Okujja mu Nkuŋŋaana
LWAKI KIKULU: Enkuŋŋaana zitusobozesa ‘okuyimbira Yakuwa n’okumutendereza.’ (Zb 149:1) Bwe tuba mu nkuŋŋaana, tuyigirizibwa okukola Katonda by’ayagala. (Zb 143:10) Abantu abasiima obubaka bwaffe n’abayizi ba Bayibuli bakulaakulana mangu mu by’omwoyo bwe batandika okujja mu nkuŋŋaana.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Bw’oba waakabuulira omuntu mukubirize okujja mu nkuŋŋaana. Tolinda okutuusa ng’afuuse omuyizi wa Bayibuli.—Kub 22:17
Munnyonnyole enkuŋŋaana bwe zibeera era n’ebinaayigirizibwa mu lukuŋŋaana olunaddako. Oyinza okukozesa ebintu bino: akapapula akayita abantu mu nkuŋŋaana, vidiyo Biki Ebikolebwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka?, n’essomo 5 ne 7 mu brocuwa Abakola Yakuwa by’Ayagala
By’oyinza okukola okumuyamba: Yandiba nga yeetaaga okuyambibwako mu by’entambula oba okumuyambako okulonda oluyoge olusaana? Bw’ajja mu nkuŋŋaana, tuula naye mukozese mmwembi ebitabo byo. Mwanjule eri abalala