Ababuulizi mu Cook Islands bagaba obupapula obuyita abantu mu nkuŋŋaana
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
OMUNAALA GW’OMUKUUMI
Ekibuuzo: Ddala bamalayika gyebali?
Ekyawandiikibwa: Zb 103:20
Eky’okugaba: Akatabo kano kalaga ekyo Bayibuli ky’eyogera ku bamalayika, era n’engeri ebyo bye bakola gye bitukwatako.
YIGIRIZA AMAZIMA
Ekibuuzo: Olowooza ebyo bannassaayansi bye bazudde biraga nti Bayibuli si ntuufu?
Ekyawandiikibwa: Is 40:22
Amazima: Bayibuli by’eyogera ku bikwata ku ssaayansi bituufu.
AKAPAPULA AKAYITA ABANTU MU NKUŊŊAANA (inv)
Eby’okwogera: Nkuyita ojje owulirize okwogera okwesigamiziddwa ku Bayibuli okujja okubeera ku Kingdom Hall. [Muwe akapapula akayita abantu mu nkuŋŋaana, omulage ekifo n’ekiseera ebiragiddwa ku kapapula, era omubuulire omutwe gw’emboozi ya bonna.]
Ekibuuzo: Wali ogenzeeko ku Kingdom Hall? [Bwe kiba kisoboka, mulage vidiyo erina omutwe, Biki Ebikolebwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka?]
TEGEKA ENNYANJULA YO
Kozesa ebyokulabirako ebiri waggulu okutegeka ennyanjula yo.