Ssebutemba 4-10
EZEEKYERI 42-45
Oluyimba 26 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Okusinza Okulongoofu Kuzzibwawo”: (Ddak. 10)
Ezk 43:10-12—Yakuwa yawa Ezeekyeri okwolesebwa okukwata ku yeekaalu okusobola okuyamba Abayudaaya okwenenya era n’okubakakasa nti okusinza okw’amazima kwandizziddwawo (w99 3/1 18 ¶3; it-2-E 1082 ¶2)
Ezk 44:23—Bakabona bandibadde bayigiriza abantu “enjawulo eriwo wakati w’ekirongoofu n’ekitali kirongoofu”
Ezk 45:16—Abantu bandiwagidde abo Yakuwa be yanditaddewo okubakulembera (w99 3/1 19 ¶10)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Ezk 43:8, 9—Abayisirayiri bavvoola batya erinnya lya Katonda? (it-2-E 467 ¶4)
Ezk 45:9, 10—Kiki Yakuwa ky’asuubira mu abo abaagala okusiimibwa gy’ali? (it-2-E 140)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Ezk 44:1-9
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Tegeka Ennyanjula z’Omwezi Guno: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo eziraga ennyanjula ze tuyinza okukozesa era oluvannyuma lwa buli vidiyo, mukubaganye ebirowoozo.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Lwaki Okusinza Okulongoofu Okutwala nga Kwa Muwendo?”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv sul. 16 ¶15-22, akas. ku lup. 194
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 23 n’Okusaba