EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EZEEKYERI 42-45
Okusinza Okulongoofu Kuzzibwawo
Okwolesebwa okukwata ku yeekaalu Ezeekyeri kwe yafuna kwakakasa Abayisirayiri abeesigwa abaali mu buwaŋŋanguse nti okusinza okulongoofu kwandizziddwawo. Ate era kwabajjukiza nti abo abasinza Yakuwa balina okugoberera emitindo gye egya waggulu.
Bakabona bandiyigirizza abantu emitindo gya Yakuwa
Waayo ebyokulabirako ebiraga engeri omuddu omwesigwa era ow’amagezi gy’atuyigirizzaamu enjawulo eriwo wakati w’ebintu ebirongoofu n’ebitali birongoofu. (kr-E 110-117)
Abantu baali ba kuwagira abo Katonda be yanditaddewo okubakulembera
Tuyinza tutya okulaga nti tuwagira abakadde mu kibiina?