LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb16 Noovemba lup. 5
  • Engeri y’Okukozesa Akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri y’Okukozesa Akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Similar Material
  • Koppa Omuyigiriza Omukulu ng’Okozesa Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Yamba Abalala Okugondera Ekyo Baibuli Ky’Eyigiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza—Kye ky’Okukozesa Ekikulu nga Tuyigiriza Abantu Baibuli
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Noovemba lup. 5

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri y’Okukozesa Akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

Ebiri mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? ne mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza tebyawukana nnyo. Obutabo buno bwombi tubukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli era essuula zaabwo zisengekeddwa mu ngeri y’emu. Kyokka akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? kagonzeddwamu. Kaategekebwa okuyamba abo abazibuwalirwa okutegeera ebiri mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza. Akatabo Bye Tuyiga kalimu ebyongerezeddwako we bannyonnyolera amakulu g’ebigambo ebimu ebikalimu. Essuula we zitandikira tewaliiwo bibuuzo, era ne ku nkomerero ya buli ssuula tewaliiwo kasanduuko ka bibuuzo eby’okwejjukanya. Mu kifo ky’ekyo, ku nkomerero ya buli ssuula waliwo ekitundu ekiraga ensonga enkulu eziri mu ssuula eyo. Okufaananako Baibuli Ky’Eyigiriza, akatabo Bye Tuyiga tusobola okukawa abantu ekiseera kyonna, wadde ng’omwezi ogwo si ke tuba tugaba. Tuyinza kukozesa tutya ebitundu eby’enjawulo ebiri mu katabo kano nga tuyigiriza omuntu Bayibuli?

Bye Tuyize mu katabo Bye Tuyiga

EKITUNDU EKIRINA OMUTWE OGUGAMBA NTI, BYE TUYIZE: Ebiseera ebisinga obungi bwe tuba tuyigiriza omuntu Bayibuli, tusoma akatundu oluvannyuma ne tumubuuza ekibuuzo. Naye ate kiba kitya singa oyo gw’oyigiriza aba tamanyi bulungi lulimi lw’okozesa, oba nga tamanyi kusoma bulungi? Awo oyinza okukozesa ebiri mu kitundu kino okumuyigiriza era n’omukubiriza yeesomere ebiri mu ssuula. Ku buli mulundi, oyinza okumuyigirizaayo ensonga emu okumala eddakiika nga 15. Olw’okuba ekitundu kino tekiriimu byonna ebiri mu ssuula, osaanidde okutegeka obulungi, era n’olowooza ne ku byetaago by’omuyizi wo. Naye bw’okozesa ebiri mu ssuula okuyigiriza omuyizi, ebiri mu kitundu kino muyinza okubikozesa okwejjukanya.

Ebyongerezeddwako mu katabo Bye Tuyiga

EBYONGEREZEDDWAKO: Ebigambo ebinnyonnyolwa mu kitundu kino bisengekeddwa okusinziira ku ssuula nga bwe ziddiriŋŋana. Omusomesa ayinza okusalawo obanga ebyongerezeddwako ebiri mu katabo Bye Tuyiga anaabikubaganyaako ebirowoozo n’omuyizi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share