LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb16 Ddesemba lup. 7
  • Ensi Erijjula Okumanya Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ensi Erijjula Okumanya Yakuwa
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Similar Material
  • Osobola Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Essanyu!
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • “Tulabagane mu Lusuku lwa Katonda!”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Okyusiddwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Olina ky’Osinziirako Okukkiriza Nti Walibaawo Olusuku Lwa Katonda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
mwb16 Ddesemba lup. 7

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ISAAYA 11-16

Ensi Erijjula Okumanya Yakuwa

Omwana azannya n’ensolo ez’omu nsiko mu nsi empya

11:6-9

Engeri obunnabbi buno gye bwatuukirira ku Bayisirayiri

  • Abayisirayiri bwe baali baddayo mu nsi yaabwe nga bava mu buwaŋŋanguse e Babulooni era ne bwe baatuuka mu nsi yaabwe, tewaaliwo kibaleetera kutya, ka zibe nsolo nkambwe oba abantu abakambwe ng’ensolo.​—Ezr 8:21, 22

Engeri obunnabbi obwo gye butuukiridde mu kiseera kyaffe

  • Abantu bangi bakoze enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe oluvannyuma lw’okumanya Yakuwa. Abantu abaali abakambwe bafuuse ba mirembe. Abantu abamanyi Yakuwa bali mu lusuku olw’eby’omwoyo

Engeri obunnabbi obwo gye bunaatuukirira mu biseera eby’omu maaso

  • Ensi yonna ejja kulongooka ebeeremu emirembe n’obutebenkevu, ng’ekigendererwa kya Katonda bwe kyali. Mu kiseera ekyo tewalibaawo nsolo nkambwe, oba abantu abakambwe

Pawulo yakola enkyukakyuka oluvannyuma lw’okumanya Katonda

  • Omutume Pawulo bwe yali akyali Mufalisaayo, yali mukambwe nnyo.​—1Ti 1:13

  • Okumanya amazima kwamuleetera okukyusa enneeyisa ye.​—Bak 3:8-10

Omutume Pawulo eyali omukambwe yakyuka n’afuuka omuntu omulungi
    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share