OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kulaakulanya Engeri Ennungi—Obuvumu
LWAKI KIKULU:
- Okubuulira kwetaagisa obuvumu.—Bik 5:27-29, 41, 42 
- Mu kibonyoobonyo ekinene kijja kutwetaagisa okuba abavumu.—Mat 24:15-21 
- Okutya abantu kuvaamu emitawaana.—Yer 38:17-20; 39:4-7 
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Mbeera ki ezindeetera okutya nga ndi mu buweereza ze nneetaaga okuvvuunuka?
MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, WEEWALE EBIYINZA OKUKUVIIRAKO OBUTABA MWESIGWA—OKUTYA ABANTU, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
- Lwaki kitwetaagisa okuba abavumu nga tubuulira? 
- Okusinziira ku Engero 29:25, kiki ekinaatuyamba okuba abavumu? 
- Lwaki kikulu okukulaakulanya obuvumu kati?