EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yakuwa Katonda Wo Akwetaaza Ki?”
Gondera Yakuwa olw’okuba omussaamu ekitiibwa era olw’okuba omwagala (Ma 10:12; w09-E 10/1 lup. 10 ¶3-4)
Bwe tuba abawulize tufuna emikisa (Ma 10:13; w09-E 10/1 lup. 10 ¶6)
Yakuwa ayagala tube n’enkolagana ey’oku lusegere naye (Ma 10:15; cl lup. 16 ¶2)
Yakuwa tatukaka kumugondera. Mu kifo ky’ekyo, ayagala tumugondere era tumwagale ‘okuviira ddala ku mutima.’ (Bar 6:17) Abo abasalawo okuweereza Yakuwa, baba n’obulamu obusingayo okuba obulungi.