LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb21 Ssebutemba lup. 11
  • Kkiriza Obuyambi bwa Bakkiriza Banno

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kkiriza Obuyambi bwa Bakkiriza Banno
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Similar Material
  • Kozesa Ebibuuzo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Fuba Okutuuka ku Mutima
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Weeyongere Okufuna Essanyu mu Buweereza
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Ng’Okkiriza Obuyambi Yakuwa bw’Atuwa Okuyitira mu Kusaba
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
mwb21 Ssebutemba lup. 11

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA

Kkiriza Obuyambi bwa Bakkiriza Banno

Yakuwa atuyamba ng’ayitira mu baganda baffe ne bannyinaffe. (1Pe 5:9) Basobola okutuyamba okwaŋŋanga okusoomooza kwe twolekagana nakwo mu mulimu gw’okubuulira. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yaganyulwa nnyo mu buyambi obwamuweebwa Akula ne Pulisikira, Siira, Timoseewo, n’abalala.​—Bik 18:1-5.

Bakkiriza banno bayinza batya okukuyamba ng’okola omulimu gw’okubuulira? Bayinza okukuwa amagezi ku ngeri y’okukwatamu abantu ababa bataagala kuwuliriza, engeri y’okuddiŋŋanamu, n’engeri y’okuyigirizaamu abantu Bayibuli. Lowooza ku muntu mu kibiina kyo asobola okukuwa obuyambi bwe weetaaga era omusabe akuyambe. Tewali kubuusabuusa nti mmwembi mujja kuganyulwa, era mujja kweyongera okufuna essanyu.​—Baf 1:25.

MULABE VIDIYO, FUNA ESSANYU ERIVA MU KUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA NG’OKKIRIZA OBUYAMBI YAKUWA BW’ATUWA​—BAGANDA BAFFE NE BANNYINAFFE, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi okuva mu vidiyo, “Funa Essanyu Eriva mu Kufuula Abantu Abayigirizwa ng’Okkiriza Obuyambi Yakuwa bw’Atuwa​—Baganda Baffe ne Bannyinaffe.” Anita ayigiriza Shanita ng’ali wamu ne mwannyinaffe omulala.

    Anita yagezaako atya okukubiriza Shanita okubaawo mu nkuŋŋaana?

  • Ekifaananyi okuva mu vidiyo, “Funa Essanyu Eriva mu Kufuula Abantu Abayigirizwa ng’Okkiriza Obuyambi Yakuwa bw’Atuwa​—Baganda Baffe ne Bannyinaffe.” Abigay, awerekeddeko Anita era agamba Shanita nti yaliko mu bandi y’abayimbi.

    Lwaki tusaanidde okusaba ababuulizi abalala okutuyambako nga tuyigiriza omuyizi waffe owa Bayibuli?

  • Ekifaananyi okuva mu vidiyo, “Funa Essanyu Eriva mu Kufuula Abantu Abayigirizwa ng’Okkiriza Obuyambi Yakuwa bw’Atuwa​—Baganda Baffe ne Bannyinaffe.”Abigay ayigiriza Shanita Bayibuli nga Anita taliiwo.

    Omuntu okufuuka omuyigirizwa ayambibwa ekibiina kyonna

    Kiki Shanita ne Abigail kye baali bafaanaganya?

  • Ababuulizi abalala basobola kukuyamba batya mu buweereza?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share