EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Ekikolwa Ekyoleka Obuvumu
[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo Ekyabalamuzi.]
Yakuwa yakozesa omulamuzi Ekudi okununula Abayisirayiri okuva mu mukono gw’Abamowaabu (Bal 3:15; w04-E 3/15 lup. 31 ¶3)
Ekudi yatta Kabaka Eguloni n’atuusa Isirayiri ku buwanguzi (Bal 3:16-23, 30; w04-E 3/15 lup. 30 ¶1-3)
Ebyo ebyaliwo bituyigiriza ki ku buvumu n’okwesiga Yakuwa?