EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Omuganyulo Oguli mu Kuba n’Amagezi
Sulemaani yasaba Yakuwa amuwe amagezi (1Sk 3:7-9; w11 12/15 lup. 8 ¶4-6)
Ekyo Sulemaani kye yasaba kyasanyusa Yakuwa (1Sk 3:10-13)
Olw’okuba Sulemaani yakoleranga ku magezi agava eri Katonda, ensi yalimu emirembe (1Sk 4:25)
Omuntu ow’amagezi y’oyo afuba okumanya obulungi ekintu, era n’akozesa okumanya okwo okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Amagezi ga muwendo okusinga zzaabu. (Nge 16:16) Tusobola okufuna amagezi nga tusaba Katonda agatuwe, nga tumutya, nga tuba beetoowaze, era nga twesomesa Ekigambo kye.