LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp23 Na. 1 lup. 6-7
  • 1 | Okusaba—‘Mumukwase Byonna Ebibeeraliikiriza’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 1 | Okusaba—‘Mumukwase Byonna Ebibeeraliikiriza’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kye Kitegeeza
  • Engeri Okusaba Gye Kutuyambamu
  • Yakuwa Mukwase Byonna Ebikweraliikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Okweraliikirira
    Zuukuka!—2016
  • Engeri gy’Oyinza Okwaŋŋangamu Ebikweraliikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
wp23 Na. 1 lup. 6-7
Omuvubuka omwennyamivu ng’asaba.

1 | Okusaba ‘Mumukwase Byonna Ebibeeraliikiriza’

BAYIBULI EGAMBA NTI: ‘Mukwase Katonda byonna ebibeeraliikiriza, kubanga abafaako.’—1 PEETERO 5:7.

Kye Kitegeeza

Yakuwa Katonda atukubiriza okumutegeeza byonna ebitweraliikiriza oba ebituzitoowerera. (Zabbuli 55:22) Tusobola okumutegeeza ekizibu kyonna kye tuba twolekagana nakyo, ka kibe kinene oba kitono. Yakuwa akitwala nti kikulu okumusaba kubanga atufaako. Okusaba kye kimu ku bintu ebikulu ebituyamba okufuna emirembe ku mutima.—Abafiripi 4:6, 7.

Engeri Okusaba Gye Kutuyambamu

Bwe tuba nga tutawaanyizibwa obulwadde obukosa ebirowoozo, tuyinza okuwulira nti tewali atufaako. Oluusi abantu abalala tebategeera mu bujjuvu kizibu kyaffe. (Engero 14:10) Naye bwe tusaba Katonda atuwulira, era ategeera engeri gye twewuliramu. Yakuwa atulaba. Amanyi obulumi bwe tuba tuyitamu, era ayagala tumutegeeze ekintu kyonna ekiba kitweraliikiriza.​—2 Ebyomumirembe 6:29, 30.

Okusaba kutuyamba okweyongera okuba abakakafu nti Yakuwa atufaako. Naffe tusobola okuwulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba Katonda mu kusaba nti: “Olabye obuyinike bwange; omanyi obulumi obw’amaanyi bwe ndimu.” (Zabbuli 31:7) Okukimanya nti Yakuwa alaba embeera gye tuyitamu kituyamba okugumira embeera eyo. Kyokka takoma ku kulaba mbeera gye tuyitamu. Agitegeera bulungi okusinga omuntu yenna, era akozesa Ekigambo kye Bayibuli okutubudaabuda n’okutuzzaamu amaanyi.

Engeri Bayibuli gy’Eyamba Julian

Engeri Okweraliikirira Ekisukkiridde Gye Kunkosaamu

Julian.

“Nnina ekizibu ky’okweraliikirira ekisukkiridde n’okufuna ebirowoozo ebibi, era ekyo kindeetera obulumi bungi. Emirundi egimu mba bulungi, ate mu kaseera buseera ne ntandika okweraliikirira awatali nsonga yonna. Okusingira ddala ntera okweraliikirira nga ndi mu bantu. Mba ndowooza nnyo ku ekyo kye bandowoozaako.

“Abo abamanyi ekizibu kyange bannyamba nnyo. Kyo kituufu nti oluusi ebyo bye baŋŋamba si bye mba njagala okuwulira. Naye mbasiima nnyo olw’okuba baba bagezaako kunnyamba.

“Ebiseera ebimu kimbeerera kizibu nnyo okusaba olw’obulwadde bwange obwo. Kiba kinneetaagisa okufuba ennyo okwogerako ne Yakuwa mu kusaba. Ebirowoozo byange bidduka nnyo. Mu kaseera katono mba ndowooza ku kino na kiri, era ekyo kindeetera okutabulwa. Bwe mba mu mbeera ng’eyo, kimbeerera kizibu nnyo okutegeeza Katonda ebiba bindi ku mutima.”

Engeri Bayibuli gy’Ennyambamu

“Okusoma Bayibuli kinnyambye okukimanya nti Katonda awulira essaala zange ne bwe ziba nnyimpi zitya oba ne bwe mba nga sisobodde kusengeka bulungi bigambo. Oluusi bwe mba sisobola kubuulira Katonda ngeri gye nneewuliramu, ŋŋamba bugambi nti: ‘Yakuwa, nsaba onnyambe.’ Nkirabye nti ne bwe nsaba essaala ng’eyo Yakuwa agiwulira, era ampa obuyambi bwe mba nneetaaga mu kiseera ekyo. Ng’oggyeeko okusaba, era nfuna n’obujjanjabi. Okusaba n’obujjanjabi obumpeebwa binnyambye nnyo. Wadde nga tekinnyanguyira kusaba Kitange ow’omu ggulu, nfuba okumusaba kubanga nkimanyi nti anjagala era ayagala okunnyamba.”

Ebisobola Okuyamba Abavubuka

Vidiyo “Beera Mukwano gwa Yakuwa—Osobola Okusaba Yakuwa Ekiseera Kyonna.”

Genda ku jw.org, olabe ensonga lwaki osobola okuba omukakafu nti Katonda awuliriza essaala zo era aziddamu.

Laba vidiyo Beera Mukwano gwa Yakuwa—Osobola Okusaba Yakuwa Ekiseera Kyonna.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share