LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp23 Na. 1 lup. 8-9
  • 2 | ‘Okubudaabuda Okuva mu Byawandiikibwa’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 2 | ‘Okubudaabuda Okuva mu Byawandiikibwa’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kye Kitegeeza
  • Engeri Ebyawandiikibwa Gye Bituyambamu
  • Kiki Ekiviirako—Abavubuka Okwennyamira?
    Zuukuka!—2017
  • 3 | Ebyokulabirako by’Abantu Aboogerwako mu Bayibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
wp23 Na. 1 lup. 8-9
Omusajja ng’afumiitiriza ku ebyo by’asoma mu Bayibuli.

2 | ‘Okubudaabuda Okuva mu Byawandiikibwa’

BAYIBULI EGAMBA NTI: “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.” —ABARUUMI 15:4.

Kye Kitegeeza

Bayibuli erimu ebintu ebibudaabuda era ebisobola okutuyamba nga tutawaanyizibwa ebirowoozo ebibi. Ate era obubaka obuli mu Bayibuli butuwa essuubi nti ekiseera kijja kutuuka obulumi bwonna bwe tufuna olw’ebirowoozo ebibi buggweewo.

Engeri Ebyawandiikibwa Gye Bituyambamu

Ffenna oluusi tuba n’ebitweraliikiriza oba ebitwennyamiza. Naye abantu abalina ekizibu ky’okwekyawa oba eky’okweraliikirira ekisusse baba n’enneewulira eyo buli lunaku. Bayibuli eyinza etya okuyamba abantu ng’abo?

  • Bayibuli erimu ebigambo ebizzaamu amaanyi omuntu by’asobola okulowoozaako ne kimuyamba obutalowooza ku bintu ebimalamu amaanyi. (Abafiripi 4:8) Okujjuza mu birowoozo byaffe obubaka obuzzaamu amaanyi obuli mu Bayibuli kituyamba okubudaabudibwa n’okutebenkera mu birowoozo.—Zabbuli 94:18, 19.

  • Bwe tuba nga tulowooza nti tetulina mugaso, Bayibuli esobola okutuyamba okuvvuunuka endowooza eyo emalamu amaanyi.—Lukka 12:6, 7.

  • Ebyawandiikibwa bingi mu Bayibuli bituyamba okukiraba nti tetuli ffekka, era nti Omutonzi waffe ategeera bulungi engeri gye twewuliramu.—Zabbuli 34:18; 1 Yokaana 3:19, 20.

  • Bayibuli egamba nti ekiseera kijja kutuuka tube nga tetukyalowooza ku bintu bituleetera bulumi. (Isaaya 65:17; Okubikkulirwa 21:4) Ekyo Bayibuli ky’esuubiza kituyamba okugumiikiriza bwe tuba nga tulina obulwadde obukosa ebirowoozo.

Engeri Bayibuli gy’Eyamba Jessica

Engeri Gye Nkosebwamu Ekizibu ky’Okwekyawa

Jessica yeebase ng’akutte Bayibuli gy’abikkudde.

“Bwe nnali nga ndi wa myaka 25, lwakya lumu ne mba nga sikyasobola kukola bintu bye nnalinga nkola. Kyazuulibwa nti nnalina obulwadde bw’okwekyawa. Nnatandika okuba nga buli kiseera ndowooza ku bintu ebitali birungi ebyantuukako mu biseera eby’emabega. Abasawo bannyamba okukitegeera nti ekizibu eky’okwekyawa kye nnalina kyali kiva ku birowoozo ebimalamu amaanyi bye nnabanga nabyo olw’ebintu ebibi bye nnayitamu mu biseera eby’emabega. Ng’oggyeeko eddagala ettuufu, nnali nneetaaga n’abakugu okunnyamba okutegeera ekizibu kyange n’okunnyamba okutereeza ebirowoozo byange.”

Engeri Bayibuli gy’Ennyambamu

“Mu kiseera ekizibu ky’okwekyawa we kyabeereranga eky’amaanyi, nnafunanga okutya, nneeraliikiriranga nnyo, era nnabulwanga otulo. Emirundi mingi ekiro nnawuliranga ng’ebirowoozo binsukkiriddeko. Nga Zabbuli 94:19 bw’egamba, bwe tuba nga tweraliikirira nnyo Katonda asobola okutubudaabuda. Eyo ye nsonga lwaki nnassanga Bayibuli yange n’akatabo mwe mpandiika ebyawandiikibwa ebinzizaamu amaanyi okumpi n’ekitanda kyange. Bwe nnabulwanga otulo, waliwo ennyiriri mu Bayibuli ze nnasomanga ezambudaabudanga.

“Mu Bayibuli tukubirizibwa okweggyamu endowooza egamba nti Katonda tatwagala era nti takufaako. Edda nnalinga ndowooza nti sirina mugaso era nti siyinza kwagalibwa. Naye Bayibuli ennyambye okukimanya nti endowooza ng’eyo si ntuufu. Bayibuli eraga nti Katonda waffe atwagala nnyo, musaasizi, era atufaako kinnoomu. Nnagenda nnwanyisa mpolampola endowooza emalamu amaanyi ne ntandika okuba n’endowooza ennungi. Kati nnayiga okwetunuulira nga Katonda bw’antunuulira. Ekyo kyannyamba nnyo okulekera awo okulowooza nti sirina mugaso era nti siyinza kwagalibwa.

“Nneesunga ekiseera lwe tuliba nga tetukyafuna bulumi olw’okujjukira ebintu ebibi bye twayitamu, era nga tetukyafuna ndwadde zituviirako kukosebwa mu birowoozo. Okukimanya nti ekiseera kijja kutuuka endwadde ng’ezo zibe nga tezikyaliwo, kinnyamba okugumira ekizibu kyange n’okuba n’essuubi nti mu biseera eby’omu maaso nja kuba sikyalina kizibu kya kwekyawa.”

Ebirala Ebiyinza Okukuyamba:

Soma ekitundu ku jw.org ekirina omutwe “Obuyambi Obuva eri ‘Katonda ow’Okubudaabuda,’” mu Awake! eya Jjulaayi 2009.

Soma ekitabo kya Zabbuli.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share