LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp23 Na. 1 lup. 10-11
  • 3 | Ebyokulabirako by’Abantu Aboogerwako mu Bayibuli

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 3 | Ebyokulabirako by’Abantu Aboogerwako mu Bayibuli
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kye Kitegeeza
  • Engeri Ekyo Gye Kiyinza Okutuyamba
  • 2 | ‘Okubudaabuda Okuva mu Byawandiikibwa’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
  • 4 | Bayibuli Erimu Amagezi Agatuyamba
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
  • 1 | Okusaba—‘Mumukwase Byonna Ebibeeraliikiriza’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
  • Owulira nga Toli wa Mugaso
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
wp23 Na. 1 lup. 10-11
Nnabbi Musa omwennyamivu, atunudde waggulu ng’asaba.

3 | Ebyokulabirako by’Abantu Aboogerwako mu Bayibuli

BAYIBULI EYOGERA KU . . . Basajja n’abakazi abeesigwa abaayita mu mbeera ng’ezaffe.—YAKOBO 5:17.

Kye Kitegeeza

Bayibuli eyogera ku basajja n’abakazi bangi abaafuna obulumi mu birowoozo, olw’ebizibu bye baali boolekagana nabyo. Bwe tusoma ku bantu abo, tukiraba nti abamu ku bo baayita mu mbeera ng’eyaffe.

Engeri Ekyo Gye Kiyinza Okutuyamba

Ffenna twagala abalala babe nga bategeera engeri gye twewuliramu. Ekyo tukyetaaga nnyo naddala nga tulina obulwadde obukosa ebirowoozo. Bwe tusoma Bayibuli tukiraba nti abamu ku bantu b’eyogerako baayolekaganako n’embeera gye twolekagana nayo. Ekyo kituyamba okukiraba nti waliwo n’abalala abaayitako mu bulumi bwe tuyitamu olw’okweraliikirira ennyo, oba olw’okutawaanyizibwa mu birowoozo.

  • Mu Bayibuli mulimu ebigambo ebyayogerwa abantu abaawulira ng’embeera ebasukkiriddeko era nga basobeddwa. Wali owuliddeko nga tokyasobola kugumira mbeera gy’oyitamu? Musa, Eriya, ne Dawudi, baawulirako bwe batyo.—Okubala 11:14; 1 Bassekabaka 19:4; Zabbuli 55:4.

  • Bayibuli eyogera ku mukazi ayitibwa Kaana ‘eyafuna ennaku ey’amaanyi’ olw’obutazaala, n’olw’okuba nti muggya we yamuyeeyanga.—1 Samwiri 1:6, 10.

  • Bayibuli eyogera ne ku musajja ayitibwa Yobu eyayolekagana n’ebizibu bingi naffe bye twolekagana nabyo. Wadde nga Yobu yalina okukkiriza okw’amaanyi, yafuna obulumi bungi ku mutima n’atuuka n’okugamba nti: “Nneetamiddwa obulamu; sikyayagala kweyongera kuba mulamu.”—Yobu 7:16.

Bwe tumanya ekyo abantu aboogerwako mu Bayibuli kye baakolawo nga balina endowooza emalamu amaanyi, kituyamba okuguma ne tusobola okwaŋŋanga embeera enzibu gye tubaamu.

Engeri Bayibuli gy’Eyamba Kevin

Engeri gye Nkosebwamu Obulwadde Obuviirako Embeera Zange Okukyukakyuka

Kevin ne mikwano gye nga banywa caayi.

“Bwe nnali nga nnaatera okuweza emyaka ataano, nnazuulwamu obulwadde obunviirako okukyukakyuka mu mbeera ne mu birowoozo. Ebiseera ebimu mba mpulira nti nsobola okugonjoola ekizibu kyonna kye nnyinza okwolekagana nakyo. Ate ebiseera ebirala mba mpulira nga kyandisinzeeko nfe.”

Engeri Bayibuli gy’Ennyambamu

“Omu ku bantu aboogerwako mu Bayibuli gwe njagala ennyo okusomako ye mutume Peetero. Peetero yakola ensobi ezaamuleetera okuwulira nti talina mugaso. Mu kifo ky’okusigala ng’alina endowooza ng’eyo, Peetero yagendanga n’abeerako ne mikwano gye abaali bamufaako. Olw’obulwadde bwange, oluusi bwe nzijukira ensobi gye nnakola oba bwe mbaako ekintu ekitali kirungi kye mba nkoze, mba mpulira nga sirina mugaso. Okufaananako Peetero, njize obukulu bw’okubeera awamu ne mikwano gyange abannyamba okwaŋŋanga ekizibu kyange ne siggwaamu maanyi.

“Omuntu omulala gwe nsomako mu Bayibuli ne mpulira nga mbudaabudiddwa ye Kabaka Dawudi. Emirundi mingi yawuliranga nga yennyamidde olw’embeera gye yabangamu, era yejjusanga olw’ensobi ze yakolanga. Okufaananako Dawudi, nange oluusi njogera oba nkola ebintu ne mbyejjusa oluvannyuma. Ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 51 bimbudaabuda nnyo. Mu lunyiriri 3, Dawudi yagamba nti: ‘Ebyonoono byange mbimanyi bulungi, era ekibi kyange kiri mu maaso gange buli kiseera.’ Bwe mba omwennyamivu ennyo, mpulirira ddala bwe ntyo, era kimbeerera kizibu okulowooza nti nnina omugaso gwonna. Kyokka n’ebigambo ebiri mu lunyiriri 10 nabyo binkwatako nnyo. Dawudi yagamba nti: ‘Ntondaamu omutima omulongoofu, Ai Katonda, era nteekaamu omwoyo omuggya, omunywevu.’ Nange nkozesa ebigambo ebifaananako bwe bityo nga nsaba Katonda annyambe nsobole okuddamu okuwulira nti ndi wa mugaso. Olunyiriri 17 lumbudaabuda nnyo. Lugamba nti: ‘Omutima ogumenyese era oguboneredde toogugayenga, Ai Katonda.’ Ebigambo ebyo binnyamba okuba omukakafu nti Katonda anjagala.

“Okulowooza ku bantu abo aboogerwako mu Bayibuli, n’abo Katonda b’ampadde mu kiseera kino, kinnyambye okunyweza essuubi lye nnina erikwata ku biseera eby’omu maaso. Ndaba nti ebyo Bayibuli by’esuubiza bya ddala era ekyo kinnyamba obutaggwaamu maanyi.”

Ebirala Ebiyinza Okukuyamba:

Soma ekitundu ku jw.org ekirina omutwe, Bw’Owulira nga Tokyayagala Kuba Mulamu,” mu Omunaala gw’Omukuumi 2019 na.2

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share